TOP

Abantu 27 basiibuddwa mu kalantiini e Kakuuto

Added 15th April 2020

Abantu 27 basiibuddwa mu kalantiini e Kakuuto

 Abaasiibuddwa e Kakuuto nga bawuliriza aboobuyinza.

Abaasiibuddwa e Kakuuto nga bawuliriza aboobuyinza.

ABOOBUYIINZA mu disitulikiti y'e Kyotera basiibudde abantu 27 ababadde mu Kalantiini e Kakuuto. Bano baakwatibwa oluvannyuma lw'ekiragiro kya Pulezidenti Museveni eky'okuggala ensalo bwe baagaaanibwa okweyongerayo mu Uganda nga bava e Tanzania.

Ku bano, kwabaddeko aba famire abaali bagenze ku mbaga ya muganda waabwe e Burundi kyokka bwe batuuka ku nsalo yaayo (Burundi) ng'eggaddwa, ne badda nga bayita e Tanzania. Bwe baatuuka e Mutukula ku nsalo baagaanibwa okweyongerayo e Kampala ne bateekebwa mu kalantiini e Kakuuto.

Bamaze ennaku 20 mu kifo kino ekyaweebwayo Dr. Muzito, omutaka w'e Kyotera. Babadde bakuumwa butiribiri poliisi nga tebakkirizibwa kufuluma bweru wa kizimbe. Oluvannyuma lw'ennaku 20, baggyiddwaaako omusaayi n'ebirala ne bitwalibwa mu ‘labalatole' e Kampala era baazuuliddwa nga tebalina bulwadde bwa COVID-19 ne balagira aboobuyiinza e Kyotera okubayimbula badde ewaabwe.

Aboobuyinza okuli; RDC wa Kyotera, Maj. David Matovu, omubaka mu Palamenti ya East Afrika Ssaalongo Mathias Kasamba, n'akulira ebyobulamu e Kyotera, Dr. Edward Muwanga be baabawadde ebyavudde mu kukeberwa n'okuyimbula. Bonna babugaanye essanyu aabamu ne bafukamira waansi ne beebaza abasawo n'aboobuyinza.

Abamu ku babaateereddwa baasabye Gavumenti eyongere ku mutindo gw'ebifo mw'ekuumira abantu n'okubaliisa kuba babadde beeriisa n'okuyambibwa abazirakisa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akatale k'e Tororo akawemmense obukadde 28.

Olwaleero Pulezidenti Musev...

Olwaleero Pulezidenti Museveni agguddewo akatale e Tororo akatuumidwa Tororo Central Market . Akatale kano kazimbidwa...

Abantu nga basanyukira Pulezidenti Museveni e Tororo olwaleero.

Pulezidenti Museveni bamwan...

Abawagizi ba NRM e Tororo balaze pulezidenti Museveni omukwano ,abamu balabiddwaako nga bonna beesize langi ya...

Agamu ku maka agatikkuddwaako obusolya.

Enkuba egoyezza amaka agaso...

Abatuuze b' e Kasubi mu munisipaali y'e Lubaga mu  maka agasoba mu 50 basigadde bafumbya miyagi oluvannyuma lwa...

Mugoya ng'ayozaayoza Dr. Ssengendo.

Dr. Ssengendo alayiziddwa k...

Dr. Ahmed Ssengendo  akulira yunivaasite y'e Mbale  alayiziddwa ku bumyuka bwa Ssaabawandiisi w'ekibiina  ekitwala...

Sheikh Muzaata

Sheikh Muzaata talina Coron...

ABASAWO boogedde ku mbeera ya Sheikh Nuhu Muzaata. Akyajjanjabirwa mu kisenge ky'abayi olwa ssukkaali ayongedde...