TOP

okubasiimaAbakolera mu Owino baakukola mu mpalo

Added 15th April 2020

okubasiimaAbakolera mu Owino baakukola mu mpalo

 Akulira akatale ka Owino ng’ayogera eri abasuubuzi.

Akulira akatale ka Owino ng’ayogera eri abasuubuzi.

ABASUUBUZI mu katale ka St. Balikuddembe (Owino) basazeewo okukolera mu mpalo okusobola okuteeka ekiragiro kya minisita w'ebyobulamu, Dr. Jane Ruth Aceng mu nkola okwewala okuggalwa.

Bano okutuuka ku kino kiddiridde minisita Aceng okukyalako mu katale kano ku Lwomukaaga akawungeezi ng'agenze okugabira abasuubuzi abasula mu katale obutimba bw'ensiri n'atamatira mbeera gye bakoleramu.

Eno gye yakizuulidde nti ebiragiro ebyaweebwa obutale abakolera muno baabadde bakyabulamu okubiteeka mu nkola ng'okulekawo ebbanga wakati mu basuubuzi ne bakasitoma n'abawa ennaku bbiri olwa Ssande ne Mmande nga bakitadde mu nkola oba ssi ki baakuggalwa.

Bano tebaalinze kyagwa ku bannaabwe ab'oku Kaleerwe ne Nakawa be baggala olw'okulemwa okutuukiriza ebiragiro ebyabaweebwa. Abakulembeze baasoose kutuula n'abasuubuzi ne bakkaanya okutandikawo enkola y'okukoleranga mu mpalo okusobozesa bannaabwe abaleseewo emidaala okutondawo amabanga agamala nabo okufuna we bakolera ng'olunaku olwabwe lutuuse.

"Tuli basanyufu olw'omulimu omulungi abasuubuzi baffe gwe beekozeemu ne tusobola okumalako nsalesale wa minisita nga twetereezezza era mbasaba basigale nga bagondera ebiragiro bya gavumenti by'eneeba etuwadde okusobola okusigala nga tukola," bwatyo ssentebe w'akatale kano Godfrey Kayongo bwe yategeezeza bwe yabadde alambula akatale kano ku Mmande akawungeezi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

Batenderezza maama wa Marga...

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba...

Katende

Eyakubiddwa akakebe ka ttiy...

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa...

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.