
Minisita Ecweru (ku ddyo) ng’agabira omu ku bakyala emmere gye bagabira abantu mu kiseera kino ekya kalantiini. Wakati ye minisita Betty Amongi, ate ku kkono ye minisita Benny Namugwanya.
BANNAKAMPALA abava mu bitundu by'e Kawempe ne bagenda mu bitundu ebirala okwagala okuddamu okufuna emmere balabuddwa okukwatibwa.
Bino byayogeddwa omwogezi w'amagye ag'oku ttaka, Lt. Col. Henry Obbo ku mukolo Minisita omubeezi ow'ebigwa bitalaze, Musa Ecweru ne baminisita ba Kampala nga balambula sitoowa awakuumirwa emmere ya Gavumenti gyebagabira abatuuze ba munisiapaali y'e Nakawa.
Obbo yagambye nti abantu bano bagenda mu bitundu by'e Nakawa awali abooluganda lwabwe baddemu okufuna emmere n'agamba nti balina abakessi tebajja kubakkiriza kuddamu kugifuna.
Yagambye nti era bakolagana ne bassentebe ba zooni nga bano be balambika abantu be balina okuwa emmere y'obuwunga, ebijanjaalo, amata ne sukaali.
Minisita wa Kampala Betty Amongi wamu n'omubeezi we Benny Namugwanya baagambye nti kati bagaba emmere mu bitundu bya Nakawa n'ebya Kampala Central. Omukolo guno gwetabiddwako n'abakulembeze b'omu Nakawa abenjawulo