TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kozesa ekiseera kya kalantiini okwekubamu ttooci

Kozesa ekiseera kya kalantiini okwekubamu ttooci

Added 15th April 2020

Kozesa ekiseera kya kalantiini okwekubamu ttooci

 Bano baabadde bazannyamu mu maka gaabwe. Mufuneeyo obudde muzannyemu ng’abaagalana.

Bano baabadde bazannyamu mu maka gaabwe. Mufuneeyo obudde muzannyemu ng’abaagalana.

"MU kiseera kino buli omu alina ky'azudde ku munne ne tumanya nti teri bufumbo butalina bunafu. Era tutera okuzannyamu nga mu mbeera eno mwe tuzuulidde nti waliwo ebigambo omu ku ffe ky'abadde akubawo munne n'anyiiga kyokka ng'oluusi kuba kusaaga naye omuntu n'akitwala ng'ekyamaanyi. Kino kitulaze nti oluusi enjogera yaffe teba nnungi.

Ekirala tuzudde nti tulina obunafu bw'okwenyiiza nga tetuyingiza ssente era kino nakyo kati tukirabye engeri gye tujja okwegumiikirizaamu naddala nga twesabira n'okuyambagana mu maka.

Era tusuubira nti kalantiini w'enaggweerako tujja kuba twongedde okwezuula," Bwatyo Ann Taylor owa Bukedde ttivvi bw'anyumya ku ngeri gye baganyuddwa mu kalantiini okwezuulaBULI muntu alina obunafu lwakuba bangi balemererwa okubumanya olw'obutafuna budde bwefumiitiriza, n'okuzza emabega akatambi okumanya awava obuzibu. Buli lw'otofaayo kumanya buzibu bwo n'okubusalira amagezi, ekivaamu oluusi kwe kuteeka omusango ku balala.

Ate bwe kituuka ku baagalana oba abafumbo kiyitirira. Omu bw'atamanya bunafu bwe ekizibu n'akiteeka ku munne oluusi ebivaamu tebiba birungi. Edith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abaagalana n'okubabuulirira agamba nti kizibu omuntu okutuula wansi n'alowooza ku bibi ebimuliko ebiva ku bunafu bwe era bangi tebakikkiriza nti balina obunafu.

Mukisa agamba nti ekiseera kino ng'abantu bali waka omwami oba omukyala mukisa gwa maanyi gwe balina okukozesa okwezuula obunafu bwabwe ne bezza buggya nga bayita mu ngeri ez'enjawulo. 1 Tunula mu birungi ebikuliko mu kiseera kino.

Abaagalana bangi mu kiseera kino abafuba okukolera abaagalwa baabwe ebirungi kubanga weebali. Okugeza abasajja bagula ebyokulya awaka, era abasinga awaka basiibawo, omukyala emmere agijjulira mu budde era bangi bali mu ssanyu.

Noolwekyo, kyandibadde kyamakulu ggwe omusajja oba omukyala okusinziira ku birungi ebyo by'olaba ebireeseewo essanyu mu maka gammwe n'ozuula obunafu bwo we bubadde.

Okugeza bw'oba ekyemisana mubadde mwamanyiira kukirya ku ssaawa 10:00, kye kiseera okyusize ddala okitegeke nga bukyali, abantu bo bakiriire mu budde obutuufu.

2 Emize gy'obadde weewaaniramu kye kiseera weefumiitirize oba nga ddala gikuyamba. Okugeza waliwo omuntu nga muyombi era nga n'abamu beemanyi ne batuuka n'okwewaana nga bwe bali abayombi.

Kino kye kiseera weebuuze nti ssinga ne munnange naye muyombi olwo amaka gandibaddemu essanyu?

Abasajja abamubabadde baakimanyiira ng'ebirungi babiriira mu kibuga, kati kirowoozeeko nti mu kiseera kino ky'oli awaka ssinga naawe banaakulyako ebirungi kiyinza okukusanyusa?

Bwe kiba nga ddala naawe tekiyinza kukusanyusa, manya nti awo obaddewo n'obunafu bw'okwerowoozaako wekka, era kye kiseera wezze obuggya ne banno b'oleka awaka obalowoozeeko bw'oba olina ebirungi by'ogenda okulya, omanye nti nabo babyetaaga, era bwe kiba kisoboka ogule waakiri muliire wamu nga ffamire.

3Tunuulira omuwendo gwo eri banno mu kiseera kino.

Abasajja bangi babadde baakyayibwa awaka naye ng'obuzibu buva ku bunafu bwabwe olw'okubanga tebalina muwendo gwe bagatta oba gwebalina eri ffamire zaabwe.

Kyokka kati abamu balaba awaka embeera yakyuseemu, baagalwa olw'okuba nti kati balina omuwendo gwe bagatta ku ffamire zaabwe, okugeza eby'awaka babigula era n'awaka ababeerawo.

Noolwekyo omusajja bw'onootunuulira eby'amakulu by'okola kati by'obadde tokola ebyaleetedde embeera okukyuka kitegeeza nti ogenda kumanya obunafu bwo we bubadde.

4 Kebeera mu byali ebiruubirirwa byo mu mukwano.

Abaagalana bangi bwe baba batandika omukwano balina ebintu bye batera okuteekawo, okugeza muyinza okuba nga mwagamba nti mu myaka etaano mulina okuba nga muvudde mu muzigo kyokka kati muli mu myaka mwenda temunnaba wadde okusima omusingi.

Ssinga omusajja otuula wansi mu kiseera kino, ojja kwebuuza ddi lwe wasemba okwebuuza ku mukyalawo n'otandika okwebuuza ku mikwano gyo, so nga gino ebiseera ebisinga gyakuwanga amagezi ga kwewaamu.

Ojja kwesanga nti obunafu bwo buli ku kuwuliriza mikwano gyo egikuwabya olwo n'olemwa okwebuuza ku mukyala wo, so ng'osanga yandibadde alina engeri gy'akuwabulamu maaso.

5 Tuula wansi olowooze ku bibadde bitagenda bulungi. Omusajja oba omukyala ojjukira ekiseera lwe mwayomba ennyo n'otuuka n'okuggyirayo munno ejjambiya omuteme? Oba lwe walowooza okumuyiira amazzi agookya? Sooka amanye kiki ekyagenda obubi.

Yali ngeri gye waddamu omwagalwa wo, oba ggwe omusajja obuzibu bwava ku budde bwe wakomawo obwali obw'ekikeerezi?

Bw'onoomanya ekizibu ekyaliwo, lwe byagenda obubi kitegeeza ogenda kumanya obunafu bwo we busibuka. 6 Sooka okomye okunenya abalala. Okuggyako ng'okkirizza okukomya okunenya balala mu buli ekiguddewo, tosobola kumanya buzibu bwo obukuliko.

Noolwekyo mu kiseera kino mukyalawo ng'akugololera essaati weebuuze luli lwaki yali tagigolola. Kiyinza okuba nga wali toyagala kusasula masannyalaze naye kati ogasasula kuba wooli awaka n'omukyala afuna amaanyi agakugololera.

7 Tunuulira omutendera gw'oliko mu kiseera kino. Abakyala bangi bandibadde baakubwa dda embaga kyokka nga baakoma ku kwanjula ne batandika okweyisa nga bwe baagala ekyamalamu abasajja baabwe amaanyi. Kati mu kiseera kino omukyala waayo obuddeolabe eddaala ly'oliko lye wandibaddeko.

Bweriba siryeryo lwaki bwekiri?

Oyinza okuba nga ggwe omukyala obadde osaba ez'enviiri buli mwezi nga tolibuuzaako musajja nti owaaye lwaki tetugulaayo akataka mu kyalo mwe mwandibadde muggya emmere essaawa eno. Bweguba bwegutyo manya nti ggwe obunafu bwo buli mu kwejalabya era y'ensonga lwaki n'omusajja abadde takyakutwala nga kikulu.

8 Okwerowoozaako kikulu. Abaagalana bangi babadde bakola ebintu naye nga tebasooka kwerowoozaako nga bo wabula bali ku kyabo be babeeramu.

Oli n'afuna omukyala owookubiri olw'okuba banne b'abeeramu be bamuwaze kyokka n'ateerowoozaako ekinaabeerawo ne mukyalawe ow'awaka ngabamuwaga tebaliyo. Kati mu kiseera kino buli muntu ali ku lulwe. Kitegeeza nti olina kwerowoozaako n'ozuula obunafu bw'obadde nabwo ng'okola kusanyusa balala.

9 Tunula mu bintu eby'enkizo mu bulamu bwo. Buli muntu abadde ne by'atwala ng'ebyenkizo mu bulamu bwe naye mu kiseera kino weebuuze nti emmotoka gy'obadde oyiwako ssente nga mukyalawo enviiri zimukaddiyidde ku mutwe ekugasa ki? Omukyala weebuuze emikwano gy'obadde otwala ng'ekikulu ng'omwami wo tokyamuwuliriza weegiri mu kiseera kino?.

Kitegeeza nti ogenda kusobola okuzuula obunafu bwo olabe nga by'obadde osoosa ku mwanjo bibadde byabulimba kubanga kati byonna tebiriiwo ate abo b'obadde ogalabanja be baliwo.

10 Lowooza ku byakutwaliranga obudde.

Abakazi bangi obudde obusinga baabeeranga mu bbaala nga ne ssente ze yandibadde agulamu ekintu awaka ziggweera mu mwenge. Abasajja bo abamu baabeeranga mu bibanda bya zzaala kati byonna biggale.

Kye kiseera omwami oba omukyala okwekenneenya kiki ekibadde kikutwalira obudde oba kirina kye kikutaasizza mu kiseera kino ekya kalantiini. Bw'okizuula nti ebibadde bikutwalira obudde mu kiseera kino tebikugasa, kirungi otandike okusala amagezi ku ngeri gy'ogenda okubyewalamu nga kalantiini awedde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dayirekita Wambuga (ali mu kkooti) ng' agezaako okunnyonnyola abasomesa abamutabukidde.

Abasomesa batabukidde dayir...

Emirimu gisannyaladde ku ssomero lya Good Luck Junior School e Katalemwa mu ggombolola y'e Gombe mu disitulikiti...

Omukazi nga bamusitula okumussa ku kabangali bamutwale mu ddwaaliro.

Kabangali ya poliisi etomed...

KABANGALI ya poliisi ewabye n'erumba okukazi abadde atambulira ku mabbali g'ekkubo okukkakkana ng'emumenye okugulu....

Mu Kkooti ye kkansala w'e Luzira, Willy Turinawe  ng'atottola obulumi bwe bayitamu.

Abatuuze batabukidde abayoo...

ABATUUZE ba Stage 7 e Luzira ekisangibwa mu Munispaali y'e Nakawa bavudde mu mbeera ne batabukira abakozi ba Kkampuni...

Kimbowa agamba nti yafunye obubaka obukwata ku bulwadde bwa Kabaka.

Omukinjagi ayagala kusisink...

OMUKINJAGI ayagala kusisinkana minisita w'ennono n'obuwangwa e Mmengo ne Katikkiro Charles Peter Mayiga ababuulire ...

Aba NRM e Wakiso baagala Mu...

ABA NRM mu Wakiso basabye Pulezidenti Museveni alung’amye ababaka nga balonda Sipiika wa Palamenti. Baagambye nti...