TOP

Basaaye olusuku lwa yiika nnamba e Mpigi

Added 15th April 2020

Basaaye olusuku lwa yiika nnamba e Mpigi

 Nnaalongo Ssonko ng’ali mu lusuku lwe lwe baasanye.

Nnaalongo Ssonko ng’ali mu lusuku lwe lwe baasanye.

OMUTUUZE w'e Mpigi asobeddwa bw'asanze olusuku lwe nga lusanyiddwa n'ebijanjaalo nga babifuuyidde eddagala ly'obutwa byonna ne bikala.

Nnaalongo Elizabeth Ssonko 56 ow'e Lwanga mu Mpigi Town Council yaguddewo ekigwo bw'agenze mu lusuku lwe olwa yiika emu n'ekitundu okuyunja emmere kyokka n'asanga nga lwonna lwasaayiddwa n'ebirime ebirala byonna nga baabifuuyidde eddagala ery'obutwa ne bikala.

Yagambye nti bwe yatuuse mu lusuku ne yeetegereza yalengedde abasajja abaabadde bakutte ebijjambiya nga bagenda mu maaso n'okusaawa ebitooke bye era bwe yabakubidde enduulu ne bamutiisa okumutta. Yagambye nti yasazeewo okuddukira ku poliisi y'e Mpigi nga bw'akaaba.

Poliisi wetuukidde mu lusuku lwa Nnaalongo Ssonko yasanze abasajja nabo bakyagenda mu maaso n'okutema ebitooke kyokka olwalengedde abaserikale ne badduka nga tewali n'omu yakwatiddwa.

Nnaalongo Ssonko alumirizza Henry Mukama okukulemberamu ekibinja ky'abantu abaasaaye olusuku lwe ng'agamba nti kiva ku nkaayana ze balina.

Nnaalongo Ssonko ensonga yazitwala mu kkooti ng'agamba nti Mukama yavaayo n'ategeeza ng'ettaka bwe yaligula ku mutabani we. Agamba nti Mukama abadde aludde ng'amutigomya era asuubira nti akozesezza akaseera kano aka kalantiini okusaawa olusuku asobole okweddiza ettaka.

Muwala wa Nnaalongo Ssonko, Sylivia Nabatanzi yagambye nti Mukama yasoose kumugoba mu nnimiro n'amutiiusa okumukuba amasasi ng'akaalakaala n'emmundu n'oluvannyuma kirabika n'atwala abavubuka abaasaaye olusuku lwonna.

Yasabye aboobuyinza bamuyambe ku mutabani we Zebron Kikwabanga gw'alumiriza okutunda ettaka ly'ekika okubadde olusuku mu bukyamu nga kye kivuddeko olutalo wakati we n'omugagga Mukama. Omwogezi wa poliisi mu Katonga, Lydia Tumushabe yagambye nti poliisi enoonya abantu 10 abaasaaye olusuku luno

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Aba URA beezinze ku mmotoka...

EBY'EMMOTOKA ya Kyagulanyi gy'agamba nti teyitamu masasi byongedde okulanda ab'ekitongole ky'emisolo ekya URA bwe...

Kyagulanyi (wakati), Ssaabawandiisi wa NUP Lubongoya ne Nambooze nga bakutte ebifaananyi by’abaakwatibwa.

▶️ Bazadde b'abaakwatibwa b...

BAZADDE b'abavubuka abaakwatibwa bakaabizza abantu nga batottola ennaku gye bayitamu okuva abaana baabwe lwe baakwatibwa....

Akulira bonna bagaggawale e Gomba , Brig. Fanekansi Mugyenyi (wakati) ng’akwasa abakyala b’e Gomba ente.

Abakyala b'e Gombe bafunye ...

GAVUMENTI ng'eyita mu kitongole kyayo ekya Operation Wealth Creation (Bonna Bagaggawale) egabidde abakyala b'e...

Abaserikale nga bateeka ku kabangali omulambo gw’omusajja eyasangiddwa mu kibira e Bunnamwaya.

Bazudde omulambo ogutaliiko...

ABATUUZE bakyasobeddwa ku mulambo gwe baazudde mu kibira nga teguliiko magulu. Omulambo guno gwasangiddwa mu kibira...

Ettaka eryogerwako baalissaako n’akapande akagaana abantu okuligula. Mu katono ye Msgr. Kasibante.

Omugagga aguze ettaka ly'Ek...

ABAKRISTU b'ekigo kya St. Charles Lwanga e Gaba bali mu kusoberwa olw'engeri ettaka ly'ekigo eriwezaako yiika bbiri...