TOP

Poliisi etaasizza owoolubuto e Kalungu

Added 15th April 2020

Poliisi etaasizza owoolubuto e Kalungu

 Nalubega nga bamulinnyisa kabangali okumutwala mu ddwaaliro. Ku ddyo ye maama we Nakyomya.

Nalubega nga bamulinnyisa kabangali okumutwala mu ddwaaliro. Ku ddyo ye maama we Nakyomya.

POLIISI yataasizza omukazi ow'olubuto okuzaalira awaka nga baamusanze ne nnyina nga basobeddwa ng'ate n'obudde buzibye.

Akulira poliisi y'e Lukaya, ASP Vianey Birungi eyabadde n'abaserikale nga balawuna baafunye essimu ne babategeeza nga bwe waabaddewo omukazi alumwa eyabadde yeetaaga okutwala mu ddwaaliro mu bwangu.

Benna Nakyomya yabadde ne muwala we Mariam Nalubega 18 nga basobeddwa kubanga eddwaaliro lya Gavumenti erya Bukulula Health Centre IV , gye yabadde alina okuzaalira libali wala ddala.

Nakyomya abeera Kasunga mu muluka gw'e Kiti mu ggombolola y'e Bukulula mu Kalungu nga kizibu okutambuzaawo ebigere ng'ate muwala we yabadde azaala mwana asooka n'atya okumutwala mu bamulerwa.

"Muwala wange yali abeera Kampala naye bba n'amusindika ng'embeera etabuse olwa ssenyiga omukambwe n'ebiragiro bya Pulezidenti ng'ewange gy'alaba ng'asobola okufunirayo obujjanjabi obw'amangi," Nakyomya bwe yategeezezza.

Wakati mu kusoberwa yafunye ssimu ya poliisi n'agikuba era mu bbanga ttono OC Birungi yatuukiddewo mu kabangali ya poliisi mwe baatadde Nalubega ne nnyina ne babatwala mu ddwaaliro e Bukulula.

Maama yassizza ku kikkowe ng'atuusizza muwala we mu ddwaaliro ne yeebaza poliisi olw'obwangu bwe baakozesezza okumutuukako ne bamuwonya omwana we okuzaalira awaka we yabadde ayinza n'okufunira obuzibu.

Birungi yawabudde abakyala bonna abalina embuto n'abaami baabwe bafune amabaluwa okuva mu ofiisi ya RDC nga bwe baalagirwa olw'okwetegeka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omutaka Walusimbi alagidde ...

OMUKULU w'ekika ky'effumbe Omutaka Yusuf Mbirozankya Kigumba Walusimbi alagidde olukiiko olufuzi olw'ekika kino...

Henry Ssekyewa eyattiddwa. Mu kifaananyi ekinene y'ennyumba ya Livingstone Zziwa eyasaanyiziddwaawo ng'abatuuze bamulumiriza okuba n'ekkobaane ku kufa kwa Ssekyewa

Bamusse mu bukambwe lwa nka...

ABATUUZE ku kyalo Nakikonge ekisangibwa mu ggombolola y'e Makulubita mu disitulikiti y'e Luweero baguddemu ekyekango...

Minisita Janet Museveni ala...

Minisita w'ebyenjigiriza mu ggwanga Janet Museveni naye atuuse e Makerere University  ku kizimbe ekikuklu ekya...

David Lukyamuzi

Owa KACITA abadde omusaale ...

Abasuubuzi mu Kikuubo baguddemu ekyekango munnaabwe David Lukyamuzi Wangi ate nga mukulembeze mu kibiina kya KACITA...

Nnankulu wa Kampala alaze p...

NANKULU wa Kampala Dorothy Kisaka ayanjulidde Banakampala ebiri muntekateeka ey'emyakka 5 gyasuubira okugoberera...