TOP

Abavubuka 2 bafiiridde mu kinnya kya waka

Added 15th April 2020

Abavubuka 2 bafiiridde mu kinnya kya waka

 Owapoliisi ng’akka mu kinnya omwafiiridde abavubuka ababiri. Mu katono ye Sula Kalule abadde abeera n’abaana ba mukoddomi we abaafudde.

Owapoliisi ng’akka mu kinnya omwafiiridde abavubuka ababiri. Mu katono ye Sula Kalule abadde abeera n’abaana ba mukoddomi we abaafudde.

ENTIISA ebuutikidde abatuuze ba Katooke A mu muluka gw'e Wamala mu munisipaali y'e Nansana abavubuka babiri bwe bagudde mu kinnya ky'awaka mwe bayiwa kasasiro ne bafiiramu.

Frank Kavuma 19 abadde yakola S6 mu St. Francis e Nansana ne Mark Mulangira 17 batabani ba Geral Mwanje nnga babadde babeera ne Sula Kalule be baafudde mu ngeri ekyatabudde abatuuze.

Kigambibwa nti ebisumuluzo by'ennyumba byagudde mu kinnya ne baagala okubiggyayo nga wano we baagwiiriddeyo ne bafa. Embeera yabadde yaakutabulwa ng'abatuuze beebuuza engeri abavubuka gye baaguddemu mu kinnya omulundi ogumu.

Waliwo abaabadde balowooza nti oba oli awo omu ye yasoose okugwamu nga mu geri y'okugezaako okumutaasa n'omulala n'aggwaamu. Kalule yagambye nti amawulire g'abaana be okugwa mu kinnya gaamusanze ku mulimu era yagenze okutuuka awaka yasanze poliisi n'abatuuze nga bagezzaako okubaggyayo nga baabadde balowooza nti bakyali balamu.

Yagambye nti ekinnya kyabadde kyabikkibwako enkokoto ng'okukisima tekyabadde kyangu era baagenze okubatuukako nga bamaze okufa olw'ebbugumu eringi eryabaddemu.

Nga poliisi tennaba kutuuka abatuuze baasoose kwekolamu omulimu ne bafuna emiguwa ne bagisiba mu munnaabwe ayitibwa Ssande ne bamusindika mu kinnya okutaasa banne kyokka olw'ebbugumu eringi eryabaddeyo yalemereddwa era baagenze okumuggyayo ng'azirise.

Taata w'abavubuka yagambye nti ebisumuluzo byagudde mu kinya eggulo limu ne bamusaba sipeeya waabyo kyokka n'amunoonya n'abula.

Yabalagidde bakozese ekisenge ky'abagenyi nga bw'anoonya ekisumuluzo kyokka yabadde yaakatuuka ku mulimu ne bamukubira nga bamutegeeza nti abaana be bagudde mu kinnya. Yagambye nti ekyamusobedde y'engeri abavubuka gye baasobodde okuyita mu kutuli ekitono nga n'omwana omuto kibadde kizibu okuggyaamu.

Akulira poliisi y'e Katooke, Adam Kamuli yakubidde poliisi ezikkiza omuliro ne baggyayo abavubuka mu kinnya kyokka baasanze bamaze okufa emirambo ne gitwalibwa mu ggwanika e Mulago ng'okunoonyereza bwe kukolebwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.