TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mmengo ewandiikidde Gav't ku ttaka ly'e Ssembabule

Mmengo ewandiikidde Gav't ku ttaka ly'e Ssembabule

Added 16th April 2020

OLUTALO wakati w’Obwakabaka bwa Buganda n’omubaka wa gavumenti mu disitulikiti y’e Ssembabule,Nickson Kabuye lweyongedde okukula nga Kabuye agamba tebulina buyinza bumulemesa kuzimba ku mbuga y’essaza lino.

 

Enkaayana zino zaabalukawo ku ntandikwa y'omwezi guno aba disitulikiti baali batandise okusima omusingi gwa kalantiini mu lujja lw'enju y'essaza wabula omwami w'essaza ly'e Mawogola (eritwala disitulikiti y'e Ssembabule) Hajj Muhammed Sserwadda Muteesa n'ayimiriza abaali ku mulimu guno.
 
Kino kyaleetera Kabuye okuwandiika omukuuku gw'ebbaluwa nga April 6,2020 ng'asaba Muteesa(Ekitiibwa ekiweebwa omwami w'essaza ly'e Mawogola), aleete ekyapa ekiraga nti ettaka kw'agaana disitulikiti okuzimba nti lya Bwakabaka bwa Buganda nga April 9,2020 terunnayita.
 
"Njagala okukutegeeza nti gavumenti eya wakati yakakomyawo ebyapa ebisukka 290 eri Obwakabaka okuva 2014. N'olwekyo nkusaba oleete ku poliisi,awatali kulemererwa,kkopi y'ekyapa ky'embuga y'essaza ly'e Mawogola obutasukka olwa April 9,2020," Kabuye bweyawandiika mu bbaluwa gyeyawereeza Muteesa.
 
Wabula ku lwa April 8,2020, Ssabawolereza wa Buganda,Christopher Bwanika yawandiikira minisita Esther Mbayo avunanyizibwa ku nsonga z'ababaka ba Pulezidenti(ba RDC) okukoma ku musajja we olw'ebikolwa ebityoboola Obwakabaka.
 
"Ettaaka eryogerwako mbuga y'essaza ly'e Mawogola nga lyaddizibwa Obwakabaka mu ndagaano gyebwakola ne gavumenti eyawakati nga August 1,2013.
 
Ekikolwa kyo kiwa ekifaananyi kibi eri gavumenti gyowererezaamu ku nsonga z'ebyettaka n'olwekyo ebbaluwa eno tugiwaddeko ne minisita w'ensonga z'Obwapulezidenti akutwale ne Ssabawolereza wa Gavumenti bawabule ku bikolwa byo," Bwanika bweyategeeza mu bbaaluwa gyeyawandiikAA ng'eyanukula Kabuye.
 
Bukedde yakitegeddeko nga Kabuye bwe yalagidde abazimbi ku ggandaalo lya Paasika n'okukola emirimu gyabwe Minisita omubeezi owa gavumenti ez'ebitundu e Mmengo kyeyagambye nti kino gavumenti erina okukisalira amagezi kubanga abantu bangi bulijjo beemulugunya olwa ba ‘RDC' okuba ekitundu ku mivuyo gy'ettaka mu ggwanga.
 
"Bannaffe bano twabawandiikira nga Maarch 27,2020 okubategeza ng'Obwakabaka bwebuyimiriza emirimu gyaabwo era tewali mulimu gwonna gulinaa kugenda mu maaso okutuusa gavumenti lwerisumulula eggwanga ng'obulwadde bwa kkolona bumaze okulwanyisibwa," Minisita Kawuki bweyategezezza.
 
Embuga y'essaza ly'e Mawogola era kwe kuli ekitebe kya disitulikiti y'e Ssembabule era ng'erina ebizimbe ebiwera wadde gavumenti eyawakati yakomyawo ettaka lino eri Obwakabaka.
 
Kawuki yakozeseza embeera eno nategeza abaami b'amasaza n'amaggombolola obutakkiriza mulimu gwonna gukolebwa okuli okuzimba okugenda mu maaso mu kiseera kino ekya kalantiini.
 
"Okuzimba okulala kubadde kugenda mu maaso ku mbuga z'amaggombolola okuli Kibibi ne Ngando mu Butambala, e Masuliita- Bulemeezi ate ku ggombolola y'e Kakuuto akulira ekkomera naye abadde mu kkobaane ly'okutwala ekitundu ku ttaka ly'eggombolola. Bino byonna birina okuyimirira,"Kawuki bweyategezezza.
Eyawonye Corona attottodde bye yayiseemu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...