TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omucongo eyayimba 'Kasongo' ne 'Shauri Yako' bamusanze mu nju ng'afudde

Omucongo eyayimba 'Kasongo' ne 'Shauri Yako' bamusanze mu nju ng'afudde

Added 17th April 2020

EYAYIMBA ‘Kasongo’ ne ‘Shauri Yako’ bamusanze mu nju ng’afudde n’asattiza abantu.

 Kasongo wa Kanema

Kasongo wa Kanema

NAIROBI, Kenya
 
Omuyimbi Omucongo ono, Kasongo wa Kanema 73, abadde abeera e Nairobi ekya Kenya, yasangiddwa mu maka ge Lang'ata ng'afudde.

Abaabadde wabweru baagenze okudda mu nnyumba nga mufu ne basattira.

Wadde ng'abamu baasoose kulowooza nti yafudde ssennyiga omukambwe (coronavirus), tewali bubonero bwekuusa ku kirwadde kino bw'abadde nabwo.

Era abasawo baafulumizza lipooti ng'eraga nti yafudde kusannyalala era babadde baamugaana okuddamu okuyimba mu 2017 kyokka olumu ne yeewaggula n'ayimba.

Kasongo wa Kanema ye yali akulira bbandi ya Orchestra Super Mazembe era ye yayimba ‘Shauri Yako', ezimu ku nnyimba ezaakyaka ennyo mu myaka gya 1980.

Ennyimba ze endala kuliko Na Bimaka Te, nga zonna zaakyaka nnyo mu mawanga g'obuvanjuba bwa Afrika, okusinziira ku mawulire ga BBC. Asuubirwa okuziikibwa mu Kenya gy'amaze ebbanga okuva lwe yava e Congo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...