TOP
  • Home
  • Amawulire
  • KCCA egguddewo obutale bw'oku Kaleerwe obwatuukirizza ebisaanyizo

KCCA egguddewo obutale bw'oku Kaleerwe obwatuukirizza ebisaanyizo

Added 21st April 2020

KCCA ekkirizza obutale obwali bwaggalwa ku Kaleerwe okuddamu okukola oluvannyuma lw’okutuukirizza ebisaanyizo.

KCCA ekkirizza obutale obwali bwaggalwa ku Kaleerwe  okuddamu okukola oluvannyuma lw'okutuukirizza ebisaanyizo.

Kaleerwe alimu obutale bwobwanannyini obusoba 13 obwayimirizibwa Minisita wa Kampala Benna Namugwanya ku nkomerero ya March oluvannyuma lw'okulemererwa okutuukiriza ebisaanyizo by'okulwanyisa ekirwadde kya COVID-19.

Ababukulira baaweebwa ennaku bbiri okulongoosa n'okutuusa kati obumu tebunnatuukiriza bisaanyizo.

Obumu ku butale kuliko;  Modern, Bivamuntuuyo, Kizito , Freedom, Mpuuga, Kyosimbaonaanya , Muluya, Ssemuguwa, Ddembe, Kajubi, Akwata empola , Kaleerwe Farmers group , Musisi.

Ku  Mmande Ying. Andrew Kittaka akulira ekitongole kya KCCA yalambudde obutale bw'oku kaleerwe ng'obuna bwe yasanze bumalirizza okuteeka mu nkola ebisannyizo okuli aka Muluya, Kajjubi , Bivamuntuuyo ne Freedom  yabukirizza okuddamu okukola obulala obutanamalirizza n'abulabula obutagulawo okutuusa nga bumalirizza .

Kitaka yategeezezza nti  obutale bw'oku Kaleerwe bwaggalwawo lwa mujjuzo n'obucaafu ng'obwagguddwawo bulina okugoberera amateeka  g'okulwanyisa ekirwadde kya COVID-19.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embeera y'amasiro nga bwegali mu kiseera kino

Omuwanika wa Buganda Waggwa...

OMUMYUKA ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda,Robert Waggwa Nsibirwa bwe yabadde asoma embalirira...

Abakozi abakolera mu Owino balaajanidde Gavumenti ku mmaali yaabwe

Abakolera mu Owino balaajan...

ABASUUBUZI abakolera mu katale ka St.Balikudembe balaze obutali bumativu olw'abeebyokwerinda okubagaana okutaasa...

Eyafumitiddwa ebiso nga bw'afaanana

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Nnamwandu Sarah Nassiwa ng'akungubagira bba

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Ronald Kyobe ng'alaga emmwanyi ze. Ebifaananyi bya Ssennabulya Baagalayina

Abalimi b'emmwanyi e Lwaben...

ABALIMI b'emmwanyi mu ggombolola y'e Lwabenge e Kalungu kwe basinzidde okusaba Gavumenti nti tekoma kubakunga wazira...