TOP

Bamasheikh boogedde ku nteekateeka y'ekisiibo

Added 21st April 2020

Bamasheikh boogedde ku nteekateeka y’ekisiibo

 Sheikh Siriman Ndirangwa.

Sheikh Siriman Ndirangwa.

ABASIRAAMU bakubiriziddwa okutunula enkaliriza ku ggulu ku Lwokutaano akawungeezi balabe oba omwezi gye guli basobole okutandika okusiiba ku Lwomukaaga kyokka bwe batagulaba tewajja kubaawo kulinda kulala ku Ssande batandike okusiiba.

Supreme Mufti Sheikh Siriman Kasule Ndirangwa ow'e Kibuli ne Sheikh Muhamadi Ali Waiswa omumyuka wa Mufti, Shaban Ramathan Mubajje e Kampalamukadde bagambye nti ekisiibo ky'Abasiraamu kirina kutandika luvannyuma lwa kulaba mwezi nti kyokka bwe guba gusiikiriziddwa ebire, balina kulinda omwezi ogwa Shaban ne guggwaako oluvannyuma lw'ennaku 30 ne batandika ogwa Ramadhan (ogw'ekisiibo).

"Allah yatulagira tutandike okusiiba oluvannyuma lw'okulaba ku mwezi, naye bwe guba nga gusiikiriziddwa ebire, tulina okujjuza ennaku asatu (30) eza Shaban olwo enkeera ne tutandika Ramadhan," Ndirangwa bwe yagambye.

Ndirangwa yasabye buli Musiraamu okweyambisa ekisiibo kino alaajanire Allah ataase ensi ku kirwadde kya ssennyiga omukambwe ekitadde amawanga ku bunkenke. Yagambye nti wadde waliwo embeera eyinza okuba enzibu eri Abasiraamu mu kisiibo, nti naye tesaanye kubeeyinuza butasiiba kubanga y'engeri yokka Allah mw'ayinza okuyita okutaasa ensi ku ndwadde zonna enkambwe.

Omumyuka wa Mufti e Kampalamukadde, Sheikh Muhamadi Ali Waiswa yagambye nti Abasiraamu tebasaanye kutwala kisiibo ng'ekibonerezo eri obulamu bwabwe wabula bakimanye nti Allah mwayinza okuyita okubatereereza embeera yonna. Sheikh Waiswa yasabye Abasiraamu okugondera ebiragiro bya gavumenti omuli obutakuhhaana, obutaliira mu lujjudde wabula n'abakubiriza basaalire mu maka gaabwe kubanga namwo Allah abalaba era ajja kubasaasira.

Waiswa ne Ndirangwa baakubirizza Abasiraamu okusaalira Talawuya mu maka gaabwe okutuusa embeera lw'eneetereera. Bukedde waakufulumya omuko ogw'enjawulo ku Kisiibo buli lunaku, kale tosubwa okuyiga n'okumanya engeri gy'onooyita mu Kisiibo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...