TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Mudduukirire abazannyi embeera ya corona ebayisa bubi - Minisita

Mudduukirire abazannyi embeera ya corona ebayisa bubi - Minisita

Added 22nd April 2020

Mudduukirire abazannyi embeera ya corona ebayisa bubi - Minisita

 Minister Hanason Obua

Minister Hanason Obua

MINISITA w'Ebyemizannyo Denis Hamson Obua, asabye abantu ssekinnoomu n'amakampuni ag'enjawulo okuvaayo okuyamba ku bantu b'emizannyo basobole okuyita mu mbeera enzibu gye balimu.

Obua yategeezezza nti embeera y'ekirwadde kya ssennyiga omukambwe ekisensedde ensi yonna kiremesezza emizannyo okugenda mu maaso nga kati abagirimu tebasobola kufuna nsimbi zibayamba mu bulamu obwa bulijjo okubeezaawo famire zaabwe n'ebizibu ebirala. "Nsaba abazirakisa okuvaayo na buli omu ky'asobola okuyamba abantu baffe abali mu mizannyo kuba balina obwetaavu ate nga bali waka nga tebakyagenda mu bisaawe ate ng'emizannyo gye gibawa ensimbi," Obua bwe yategeezezza.

Yakoowodde buli kibiina ky'emizannyo okuli, ebikonde, emisinde, okubaka, rugby n'ebirala okuvaayo ku nsonga eno. "Bayibuli yakiwandiikako dda nti okugaba kulimu ebirungi bingi okusinga okuweebwa era abakikola Katonda waakubasasula mu buli ngeri," Obua bwe yayongeddeko.

Gye buvuddeko, ekibiina ekiddukanya omupiira ekya FUFA kyawaddeyo kkiro z'omuceere 10,000/- okuweebwa abazannyi b'omupiira ku mitendera egy'enjawulo.

Minisita yasiimye FUFA okuvaayo mu kaseera kano okudduukirira omulanga gwa Pulezidenti.

OW'EBIKONDE GAMWESIBYE Moses Muhangi, akulira ebikonde, yategeezezza nti bali mu nteekateeka eyamba abantu baabwe okuyita mu kaseera ka corona nti kyokka balinamu obuzibu bw'okubibagabira kuba Gavumenti yakigaana.

Yannyonnyodde nti balina abakubi b'ebikonde 30 abali ku ttiimu y'eggwanga n'abakozi mu ofiisi be bagenda okuwa mu ngeri yaabwe. "Tugenda kusala amagezi tulabe nti abantu baffe kati abali awaka tubawa emmere n'obuyambi obutonotono," Muhangi bwe yategeezezza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Agugulana ne KCCA atiisizza...

HAJJI Rashid Ssenyonjo Musisi atiisizza okukung'anya famire ye batuule mu luguudo ompi n'amayumba ge e Lweza...

Trump anywezezza ebyokwerin...

Abaserikale abamukuuma beebulungudde White House okuva mu ggye erimanyiddwa nga The Washington, DC National Guard,...

 Mwamula Juma, the UPTU General Secretary speaking the press in Kampala. Looking on is a member of UPTU. Courtesy photo

Uganda Private Teachers Uni...

Mwamula Juma, the UPTU General Secretary said the government directive is more of a populist voice than a realistic...

 Kayiwa

Munnamakolera asabye Gav't ...

MUNNAMAKKOLERO Steven Kayiwa nga y'akiikirira Bannamakkolero mu lukiiko lwa Buganda olukulu asabye gavumenti eyawakati...

Bagabidde abakozi b'Abachin...

MINISITULE y'ebyobulamu egabidde abakozi mu b'omu nnimiro z'abachina abalimira omuceere mu Lwera n'abavubi b'oku...