TOP

Omukazi attiddwa mubukambwe e Kasubi

Added 23rd April 2020

Omukazi attiddwa mubukambwe e Kasubi

 Abaserikale nga bateeka omulambo gw’omukazi ku kabangali ya poliisi.

Abaserikale nga bateeka omulambo gw’omukazi ku kabangali ya poliisi.

ABATEMU bateeze omukazi e Kasubi mu munisipaali y'e Lubaga ne bamusobyako oluvannyuma ne bamutta omulambo gwe ne bagusuula mu kisaawe.

Ettemu lino lyabaddewo mu kiro ekyakeesezza Olwokubiri mu Kasubi zzooni II okuliraana omwala omunene ogwawula Kasubi ne Kawempe era omu ku bayise eyabadde atambula ku makya ye yalabye omulambo guno n'atemya ku bakulembeze nabo abaayise poliisi.

Poliisi okuva e Kawaala yatuuse ne yeekebezze omulambo.Gwasangiddwa nga gwambuddwa nga guliko wuzi mu bulago ekiteeberezebwa nti abaakoze ettemu lino omukyala ono gye baamutugisizza oluvannyuma lw'okumusobyako.

Ssentebe w'ekitundu kino, Micheal Nsubuga yategeezezza nti mu bbanga lya myezi ebiri ono awezezza omukyala owookubiri ng'attirwa mu kitundu kyabwe n'asaba poliisi okwongera okufaayo mu kulawuna ebitundu bino.

Omulambo gw'omukyala ono tegwasangiddwaako kigwogerako ate nga ne mu batuuze abadduukiridde tekwabadeko amumanyi ekyaleeseewo okuteebereza nti yandiba nga baaleese muleete mu kitundu.

Ssentebe w'omuluka gwa Kasubi, Peter Tamale yagambye nti abantu abakola ebikolwa binobe bamu kubanga enzita y'emu, n'asaba poliisi okuzuula abaakoze ekikolwa kino.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti omukyala ono abaamusse baatuze mutuge kyokka nga batandise okunoonyereza n'asaba abaliko omuntu waabwe eyabuze bagende mu ggwanika e Mulago bakebere

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Kiwanda nga yeetegereza Tiger ezaaleteddwa.

Minisita Kiwanda asabye aba...

Minisita w'ebyobulambuzi Godfrey Kiwanda Ssuubi asabye abavubuka, abakuumaddembe n'abeesimbyewo okwogera n'okukola...

Katosi ng’afumba enkoko gy’atundira ku mutimbagano.

Atundira enkoko ku mutimbag...

UMAR Uthuman Katosi ow'e Kyanja, ssente azinoga ku mitimbagano era annyonnyola bwati ku bizinensi ye; Nnali mulunzi...

Abakinjaagi mu lufula ya Old Portbell nga bajjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu.

Ennyama tugiridde twesunze ...

ABAKINJAAGI nga bakulembeddwa abakulira, Hajji Muhammad Ssekweyama mu lufula ya Port- Bell Road beebazizza Bukedde...

Nobert Mao

Mao bamulemesezza okwogera ...

Ttiyaggaasi n'amasasi byayanirizza Nobert Mao mu kibuga ky'e Kamuli olwo abantu abaabadde bakung'aanye okumuwuliriza...

Amuriat (wakati) ng’ayamba ku batuuze b’e Nyamuyanja e Isingiro okukola bulungibwansi.

Amuriat anunudde ddereeva w...

PATRICK Oboi Amuriat agumbye ku poliisi e Mbarara okutuusa lwe bayimbudde omu ku baddereeva be eyabadde akwatiddwa...