TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Owa ISO atwaliddwa mu kkomera lwa kugabira abatakkirizibwa sitiika

Owa ISO atwaliddwa mu kkomera lwa kugabira abatakkirizibwa sitiika

Added 23rd April 2020

Owa ISO atwaliddwa mu kkomera lwa kugabira abatakkirizibwa sitiika

 Owa ISO Ariong (ku ddyo) eyavunaaniddwa n’Abayindi.

Owa ISO Ariong (ku ddyo) eyavunaaniddwa n’Abayindi.

OMUSERIKALE w'ekitongole ekikessi (ISO) abadde avunaanyizibwa ku by'okugaba sitiika z'emmotoka z'obwannannyini ezikkirizibwa okutambula mu kiseera kino ekya kalantiini asindikiddwa mu kkomera lwa kuziwa bantu batakkirizibwa.

Stephen Osikol Ariong yaweerezebwa mu minisitule y'ebyentambula okuva mu ISO olw'obukugu bwe (Events and Protocol Officer) okuyambako abakungu mu ministule eno okusunsula abantu abakola emirimu egitalekeka abalina okufuna sitiika kyokka yadda mu kuziwa bagwiira abakola omulimu gw'okutunda emmotoka.

Ariong yavunaaniddwa ku kkooti ya Buganda Road n'Abapakistan basatu okuli Ali Sabiri akulira wooteeri ya Alibaba esangibwa e Ntinda, Ali Noshad dayirekita wa kkampuni etunda emmotoka eya Jambo Auto Motors ne Imram Usama Behlum owa kkampuni ya JP Africa Jambo bonna ne bakkiriza emisango.

Bano sitiika ze babadde batambulirako zibadde ziraga nti bali mu bizinensi yaakukola na kutambuza mmere ogumu ku mirimu egitalekeka, Pulezidenti Museveni gye yakkiriza okusigala nga gikola kyokka abaserikale bwe baabayimirizza nga April 14 omwaka guno okukebera ebiboogerako ne bizinensi ze bakola nga biraga nti bali mu bya kutunda mmotoka.

Ariong olwamubuuzizza oba nga omusango yaguzza, yakkirizza nti kituufu era n'agamba omulamuzi Dorothy Bagyenyi nti Sabiri yamutuukirira ng'alina ebiwandiiko byonna ebiraga nti ali mu bizinensi ya kutambuza mmere kwe kumuwa sitiika naye yali tamanyi nti alina ekigendererwa ekirala.

Sabiri olwafuna sitiika yaziwaako baganda be abali mu bizinensi y'okutunda emmotoka nga bano be baakwasizza abalala. Bano baakwatibwa gye buvuddeko tiimu ya Lt. Col. Edith Nakalema erwanyisa obuli bw'enguzi. Bonna baasindikidwa mu kkomera e Kitalya okutuusa nga May 8, 2020 lwe banaakomezebwawo mu kkooti okuweebwa ekibonerezo.

Ate omulamuzi Bagyenyi yasindise Omuyindi Sen Abhinav akulira kkampuni ya Surgimed Uganda LTD, mu kkomera lwa kusangibwa ne sitiika emukkiriza okuvuga emmotoka y'obwannannyini kyokka ng'omulimu gw'akola tegugwa mwegyo egitalekeka Yasindikiddwa ku limanda okutuusa nga May 8, oluvannyuma lw'okwegaana omusango

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...