TOP

Omuyimbi Ssuuna naye tatudde ku corona

Added 23rd April 2020

Omuyimbi Ssuuna naye tatudde ku corona

OMUYIMBI Emmanuel Ssuuna amanyiddwa nga OS Ssuuna agaanyi okulekebwa ebbali! Naye avuddeyo okukubiriza abantu okwewala ekirwadde kya Covid-19 nga bakola ebyateekebwawo Gavumenti ne minisitule y'ebyobulamu okugobererwa.

Obubaka Ssuuna yabuyisizza mu luyimba lwe yatuumye COVID-19 olulaga embeera ey'akazigizigi eri mu ggwanga bukya kirwadde kino kibalukawo.

Ssuuna yagambye nti wadde ayinza okuba tasobola kuwaayo nsimbi oba ebintu ebirala byonna naye okukuba oluyimba kiyambako okumanyisa abantu.

Mu luyimba akubiriza abantu okufaayo okunaaba mu ngalo okutangira okusaasaana kw'akawuka ka Coronavirus.

Akayimba kano Ssuuna nga ye yakeewandiikidde ng'asinziira ku byalaba ebigenda mu maaso mu ggwanga yakataddemu ebigambo nga "And the situation was; No schooling anymore; No shopping anymore;

No travelling any more n'ebirala ebiraga nti emirimu egisinga omuli okusoma, obusuubuzi, okutambula n'emirala gizing'amye olw'ekirwadde kino.

Ssuuna teyakomye wano yawaddeyo n'emu ku mmotoka ze ziyambeko mu kutambuza abalwadde okugenda mu malwaliro okusobola okufuna obujjanjabi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...