TOP

Temugoba bantu ku mirimu-Gavumenti

Added 23rd April 2020

Temugoba bantu ku mirimu-Gavumenti

 Owere

Owere

GAMENTI eyimirizza kkampuni n'ebitongole byonna okugoba abakozi nga beesigama ku mbeera y'ekirwadde kya ssennyiga omukambwe.

Ebalagidde bagumiikirize ku kusalawo eky'enkomeredde kubanga gavumenti ekyali mu nteekateeka okulaba engeri gy'esobola okukwatirako kkampuni n'ebitongole bino okulaba nga bidda engulu. Ekiragiro kino kyavudde mu lutuula lwa kabineeti olw'enjawulo ku Mmande eyatudde mu maka g'Obwapulezidenti e Ntebe.

Kino kyabadde kigoberera ekiragiro Pulezidenti Museveni kye yawadde ku Ssande nga April 19, bwe yabadde ayogerako eri eggwanga omulundi ogwa 11 okuva ekirwadde kya Corona lwe kyabalukawo mu ggwanga.

Minisita w'ebyobusuubuzi n'amakolero Ameria Kyambadde yamusabye abeeko ky'ayogera ku kkampuni eziyimirizza abakozi ku mirimu nga n'abamu tebabasasudde. Museveni yalagidde kkampuni zino ziyimirize enteekateeka zonna ez'okuyimiriza oba okusala ku bakozi kubanga ensonga yabadde egenda kuteesebwako mu kabineeti.

Minisita w'eggwanga ow'ekikula ky'abantu avunaanyizibwa ku bakozi, Mwesigwa Rukutana yategeezezza Bukedde nti kabineeti yayisizza ekiragiro ekiyimiriza abitongole okugoba abakozi. N'ategeeza nti enteeseganya wakati wa gavumenti ne kkampuni ez'enjawulo zaatandise nga zeetabibwamu abakozi, abakiiikirira abakozi, abakozesa ne minisitule za gavumenti ezikwatibwako.

Rukutana yategeezezza nti enteeseganya nga ziwedde, bagenda kukola lipooti bagiweereze akakiiko gavumenti ke yateekawo okukola ku nsonga z'ekirwadde kya Corona aka National task Force on Covid -19 ne kabineeti bagyekenneenye. Gavumenti yaakuvaayo n'enkola ennambulukufu enaagobererwa ku ngeri ki omukozi n'omukozesa gye balina okuyisibwamu.

EKIBIINA EKIGATTA ABAKOZI KIVUDDEYO

Usher Wilson Owere akulira National Organisation of Trade Unions (NOTU) alabudde ebitongole ebirina abantu be bakozesa baleme kubagoba mu kiseera kino wabula batuule balabe engeri gye bayinza okuyambagana.

Agambye nti kino bwe kirema, oyo yenna anaagoba omukozi, NOTU emaze okuteekawo bannamateeka abajja okuwolereza abantu bano mu mbuga z'amateeka. Yasinzidde ku ofiisi z'abalima ebimuli e Ntebe ku Lwokubiri n'agamba nti abakozesa bangi bakozesa embeera eriwo ng'eggwanga liiggaddewo emirimu egisinga obungi ne bagoba abakozi ekintu ekikyamu.

Yasabye palamenti eyaguye okukola ennongoosereza mu tteeka lya NSSF kisobozese abantu abaterekayo ssente okuzifunako nga bakyali balamu bazeenyumirizeemu. Yayongeddeko nti omuntu bw'afuna ebintundu 50 ku 100 ku ssente ze yatereka ng'akyalina amaanyi zimuyamba.

Jenifer Nassali omuwandiisi w'ekibiina ekigatta abalima ebimuli mu ggwanga yategeezezza nti abakozi 5,000 baasindikibwa mu luwummula nga tebasasulwa olw'embeera y'ekirwadde. Ssinga embeera tetereera mu Bulaaya gye batunda ebimuli, abantu bano baakufiirwa emirimu basigazeeko abakozi 3,000 bokka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Munnayuganda abadde amansa ...

“Bannayuganda abasukka mu 20 be baakafa Corona e South Africa okuli; Caroline Nantongo abadde amanyiddwa nga Hajjati...

Gav't etumizza ekyuma ekyey...

GAVUMENTI etumizza ekyuma ekifulumya kemiko ezeeyambisibwa mu kukebera obulwadde bwa Corona n’endwadde endala....

Male Mabirizi

Mabirizi attunse ne Ssaabaw...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi asabye kkooti ya East Africa ezzeewo ekkomo ku myaka gya pulezidenti kubanga palamenti...

Kabaka tebagenda kumukongoj...

KABAKA Mutebi II si wakukongojjebwa ng’Obuganda bukuza amatikkira ge ag’omulundi ogwa 27 olw’okutya okusasanya...

Ow'emifumbi eyagobeddwa mu ...

OMUZANNYI w’emifumbi Geoffrey Lubega eyagobeddwa mu nyumba olw’okulemererwa okusasula ensimbi z’obupangisa adduukiriddwa....