TOP

Poliisi ekutte abagambibwa okumenya amaduuka

Added 23rd April 2020

Poliisi ekutte abagambibwa okumenya amaduuka

 Abagambibwa okuba ababbi nga baakatuusibwa ku poliisi e Mbale.

Abagambibwa okuba ababbi nga baakatuusibwa ku poliisi e Mbale.

POLIISI y'e Mbale ekutte abavubuka basatu abagambibwa nti babadde bagufudde omugano okumenya amaduuka g'abasuubuzi abali mu kiseera kino ekya kalantiini ng'abasuubuzi bali waka.

Bano baasangiddwa n'ebisumuluzo bya ‘master key' ebigambibwa nti bye bakozesa okuggulawo kkufulu ez'enjawulo.

Abaakwatiddwa kuliko; Joshua Mukisa18, Ivan Hirya 17 ne Derrick Wamai 24, nga baabakwatidde mu Half London mu munisipaali y'e Mbale era poliisi yabasanze ne ttivvi, wuufa n'ebyamasannyalaze nga byonna kirowoozebwa nti bazze babibba ku bantu.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Elgon, ASP Rogers Tayitika yategeezezza nti ttiimu ya bambega ba poliisi ye yalondodde abavubuka bano okutuusa lwe baabayodde.

Yagambye nti bagguddwaako omusango gw'obubbi ku CRB 761/ 2020 ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Innocent Ssewankambo, omuwagizi wa Vincent Kayanja (DP) ng’ali mu maziga olw’okulangirira omuntu babadde tebasuubira.

Ebyabadde mu kalulu k'obwam...

EBYAVUDDE mu kalulu ka bammeeya ba munisipaali n'aba Divizoni ez'omu City ez'enjawulo mu ggwanga byalangiriddwa...

Ebipiira ebyogerwako.

Basala bipiira ebigenda mu ...

WADDE bagamba nti "Awava munno tewadda munno" ebipiira ebikolebwa ku mmotoka zonna mu nkola ey'okuzitangira okukubagana,...

Katabaazi (awanise omukono) ne balooya be oluvannyuma lw'obuwanguzi.

Kkooti e Masaka eyimirizza ...

KKOOTI e Masaka yayimirizza okuddamu okubala obululu bwa Kalungu East lwa kusanga bbokisi nga mmenye. Omulamuzi...

Jack Wilshare

Wilshere eyali ssita wa Ars...

Essuubi ly’okusigala ku butendesi bwa Newcastle lyeyongedde okuggwa mu Steve Bruce, ttiimu eno bwe yakubiddwa Leeds...

Bobi ng’ali ne mukyala we, Barbie Itungo eggulo.

Akafubo ka Kyagulanyi n'aba...

AKAFUBO ka Kyagulanyi n'ababaka ba NUP kaasinze kutambulira ku kiki kye bazzaako oluvannyuma lw'akalulu okuggwa....