TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nannyini kampuni ya Imaana Year Company adduukiridde embeera ya COVID-19 n'obukadde 2 ssaako n'emmotoka ya Fuso

Nannyini kampuni ya Imaana Year Company adduukiridde embeera ya COVID-19 n'obukadde 2 ssaako n'emmotoka ya Fuso

Added 23rd April 2020

Nannyini kampuni ya Imaana Year Company adduukiridde embeera ya COVID-19 n'obukadde 2 ssaako n'emmotoka ya Fuso

Abdul Latif Kwizera nanyini kampuni

Abdul Latif Kwizera nanyini kampuni

Bya Sofia Nalule

Mu kaweefube wa Gavumenti gweriko ow'okulwanyisa obulwadde bwa Covid 19,abantu Ssekinoomu ne kampuni bavuddeyo okudduukirira abantu abali mu mbeera embi nga babawa ebikozesebwa okuli emmere ne sente enkalu.

Mu bamu ku bawaddeyo obuyambi ku baddeko me Kampuni ya Imaana Year Company abakola eky'okunywa ekiyitibwa Ngugasaaze.

Abdul Latif Kwizera nannyini kampuni yawadeyo obukadde bubiri,emmotoka eyekika kya Fuso eyambeko mu kutambuza ammere etwalibwa mu byalo.

Kwizeera era yasuubizza akakiiko kano okukakwasa obuwunga Kiro lukumi ezibalirirwamu obukadde obusoba mu busattu.

Yeyamye okugenda mu maaso n'okuyambako Gavumenti okusasulira pulogulaamu ez'enjawulo ezissibwa ku mikutu gye mpuliziganya ezenjawulo mu disitulikiti ezibangula abantu ku Covid 19.

Kaweefube ono aba Kampuni eno bamwongeramu gyiya olwabakozi bonna abakola ekyokunywa kino okubeera nga yabateerawo obuliri ku mirimu kwossa n'okugula obuuma obukebera abagenyi abayingira mu kampuni ne Sabuuni neyebaza Pulezidenti Museveni okukuuma obuyonjo namusaba okunaaba mu ngalo kujjumbirwe ku mirimu gyonna wadde nga Corona aweddewo mu ggwanga.

Omubaka wa Pulezidenti owe Mityana Isha Ntumwa yeebazizza Owa Ntugasaaze okubeera n'omutima omuddukirize n'ategeeza yoomu ku bavubuka abakwata ekifo ky'okumwanjo okudduukirira omulanga gwa Gavumenti n'okugoberera ebiragiro.

Yasabye abavubuka okumukoppa babeera abakozi mu kyokwenyigira mu bikolwa ebimenya amateeka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...