TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Babuuse myala okutuusa emmere ku b'omu Kibe zooni

Babuuse myala okutuusa emmere ku b'omu Kibe zooni

Added 26th April 2020

ABAGABA emmere ya gavumenti bagudde mu lukwe ababadde basomba bannaabwe ne babateeka mu mayumba mwe batasula basobole okufuna emmere ewera.

Baatandikidde mu muluka gwa Makerere III e Kawempe mu Kibe zooni ng'obwedda buli muzigo guweebwa obungi bw'emmere okusinziira ku bantu abagusulamu  nga ssentebe Sulaiman Busulwa yabaddeko okukakasa abagigaba nti kituufu abaweereddwa emmere n'ebijanjaalo batuuze batuufu.

Ku Lwomukaaga bazzeeyo  mu Kibe okumaliriza gye baagwiridde mu lukwe lw'abantu  abaafunye mikwano gyabwe ne beefuula abasula nabo n'ekigendererwa ky'okufuna emmere ennyingi.

Mu kibe baazudde enju ng'erimu abantu 17  ekyewuunyisizza abasirikale ne bakola okunoonyereza ne bazuula nga si kituufu.

Peter Lubega omu ku baabadde bagaba emmere yategeezezza nti bwe baazudde enju ng'erina omulyango mu mbiriizi  ng'esulamu abantu 17  bannannyini yo  baategeezezza nti omulyango gw'omu mbiriizi mulimu abapangisa , omuluka gwa Makerere III gukolebwa zooni 6 okuli Mayinja, Kibe, Dobi, Good Hope, Kiggundu ne Ssebina ng'eno y'esinga obunene ng'erina abatuuze abawera 2800.

Yagasseeko nti omusirikale yamaze kuyingira munda n'azuula nga temuli  mupangisa  ekyanyiizizza abagaba emmere ne bazuula nga ne ssentebe omupango yabadde agumanyiiko ne bawalirizibwa  okuyimiriza  okugaba emmere mu Kibe zooni ne badda mu Ssebina zooni.

Baabuuse myala okutuusa emmere ku bantu

Abagaba emmere baasanze obuzibu bw'okubuuka emyala okutuuka ku mayumba  nga baatuuse n'okugyekanyugira okusoboola okugibuusa emyala n'emmotoka nga tezirina makubo we ziyita.

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Adam Mulwana eyayimba Toka kwa Balabala.

Eyakubira Besigye oluyimba ...

MUSAJJA wa Dr. Kiiza Besigye, Adam Mulwana eyamuyimbira oluyimba lwa “Toka kwa bala bala” lwe yakozesa mu kulonda...

Nabilah ng’alaga empapula ze. Ku ddyo, Nabilah ng’alaga empapula ze.

Ensonga lwaki aba Nabilah b...

ABAWAGIZI ba Erias Lukwago abaabadde mu mijoozi gya FDC baawalabanyizza Nabilah Naggayi n’abawagizi nga bwe babagamba...

Akeedi

Ziizino akeedi ezitatuusa b...

Abagagga bano abataayagadde kubaatuukiriza mannya baategeezezza nti, baabasindikidde obubaka ku ssimu nga babagamba...

Madoi

Wakiso Giants egoba bw'eyin...

WAKISO Giants FC mu liigi ya babinywera eyongedde okwenyweza nga yeetegekera sizoni ejja 2020/21 bw’ekansizza...

Vialli Bainomugisha

Onduparaka ereese Bainomugisha

ONDUPARAKA FC mu liigi ya babinywera etandise kaweefube w’okwetegekera sizoni ejja 2020/21 bw’ewaludde abadde omutendesi...