TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bp. Kaggwa asiimye Museveni olwa kaweefube gw'ataddemu okulwanyisa Coronavirus

Bp. Kaggwa asiimye Museveni olwa kaweefube gw'ataddemu okulwanyisa Coronavirus

Added 26th April 2020

Bp Kaggwa yeebazizza Pulezidenti Museveni n'abaminisitule y'ebyobulamu olwa kaweefube gwe bataddemu okutaasa Uganda n'etuuka obudde buno nga tennakosebwa nnyo kirwadde kya COVID19.

OMUSUMBA w'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa y'ayimbye Missa ey'entebe enjerere mu lutikko e Kitovu ng'aliwamu n'abasaseroddooti babiri n'abasisita bana. 

Bp Kaggwa yeebazizza Pulezidenti Museveni n'abaminisitule y'ebyobulamu olwa kaweefube gwe bataddemu okutaasa Uganda n'etuuka obudde buno nga tennakosebwa nnyo kirwadde kya COVID19.

Awabudde Bannayuganda nti bagumire ettuulawaka n'okussa mu nkola ebibalagirwa abasawo olw'essuubi eririwo nti tewannabaawo afa so nga n'ababuwonye bafuniseewo. 

Bp. Kaggwa yebazizza ne Ssabasajja Kabaka n'abakungu be okwenyigira mu lutalo lw'okuwumbawumba abantu okwekuuma ekirwadde kino. 

Asabye abasiraamu nti mu kusiibwa kwabwe,beegayirire nnyo Katonda ataase Uganda olunnabe lw'ekirwadde kya COVID 19.

Aguggumbudde abasawo b'ekinnansi oba ba Herberlist abatandiikirizza okuwuddiisa Bannansi nti bazudde eddagala eriwonnya akawuka ka Coronavirus.

N'agamba nti abantu bajja kubawugukirako babeesige naye gye binnakkira ng'eggwanga balisudde mu ntatta.

Bp. Kaggwa abadde ne Bwannamukulu we Kitovu Fr. Anthony Kakumba Mwanje ne Fr. Deusdedit Luyimbaazi n'akubiriza abazadde bakumirekumire abaana baabwe mu ddiini n'emirimo baleme okutayaaya. 

 

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Basindikiddwa mu kkomera lw...

ABAASANGIBWA n’ebyambalo bya UPDF basindikiddwa mu kkomera.

Abaleppuka n'ogwokulya mu n...

KKOOTI yamagye e Makindye yejjeerezza abajaasi bataano ababadde bavunaanibwa okukola olukwe okuvuunika gavument...

Nuwashaba (ku kkono) lwe baamultwala ku kkooti okukola siteetimenti. Ku ddyo ye mwana Kyamagero eyattiddwa

Nuwashaba alaze bwe yafuna ...

OMUSAJJA gwe baakutte n’omutwe ku Palamenti ayogedde engeri gye yaweebwa ddiiru y’okusala omutwe gw’omwana n’alumiriza...

Nagirinya eyattibwa

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...