TOP

Omubaka Zaake bamututte mu ddwaaliro e Mulago

Added 29th April 2020

Omubaka Zaake bamututte mu ddwaaliro e Mulago

 Zaake ng’ali ku kkooti.

Zaake ng’ali ku kkooti.

OMUBAKA wa munisipaali y'e Mityana, Francis Butebi Zaake bamututte e Mulago okujjanjabwa, wakati mu kusika omuguwa okuva mu baffamire abaagala okuweebwa obuvunaanyizibwa okusalawo ku ddwaaliro omuntu waabwe gy'alina okujjanjabirwa.

Bridget Namirembe mukazi wa Zaake yabadde ayagala aleete ambyulensi bamutwale mu ddwaaliro ly'e Nsambya gy'aba ajjanjabirwa; kyokka poliisi n'ereeta ambyulensi yaayo ne bateekamu Zaake okumutwala e Mulago gy'ajjanjabirwa wabula ng'akyali mu mikono gya poliisi.

Zaake yasuziddwa ku kitebe kya bambega ba poliisi abanoonyereza ku misango egy'enkizo ekya Special Investigations Unit (SIU) e Kireka era baamuggyeeyo eggulo ku ssaawa 4:00 ez'oku makya okumutwala e Mulago okufuna obujjanjabi.

Bannamateeka ba Zaake baabadde bawakanya okukuumira Zaake e Kireka ate nga ky'ekifo kyennyini kye bagamba nti abaserikale we baamutulugunyirizza okutuuka mu mbeera embi gy'alimu.

Namirembe yagambye nti eky'okutwala bba e Mulago tekyakoleddwa mu mutima mulungi kubanga abasawo e Naggulu omulwadde gye yasoose okujjanjabirwa baabadde basembye atwalibwe e Nsambya.

Kigambibwa nti okusalawo Mulago, poliisi yakikoze lwa byakwerinda kubanga abaserikale bagenda kusigala nga balawuna ekifo Zaake w'ajjanjabirwa, ekiyinza okubakaluubirira mu ddwaaliro eritali wansi wa Gavumenti.

Ku Mmande poliisi olwatuusizza omubaka Zaake mu kkooti y'Omulamuzi Elias Kakooza e Mityana asomerwe emisango gy'okujeemera ebiragiro bya Pulezidenti bwe yagabira abantu b'e Buswabulongo emmere kyokka Omulamuzi bwe yalabye embeera gye yabaddemu, n'agaana okumusomera omusango era n'alagira atwalibwe ajjanjabwe.

Akulira poliisi mu ggwanga Martin Okoth Ochola yagaMbye nti poliisi yabadde esazeewo okuyimbula Zaaake ku kakalu ka Poliisi aweebwe obujjanjabi nga bwe kyasabiddwa bannamateeka be era byonna ebyetaagisa okuyimbula Zaake byakoleddwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Korea batandise kampey...

AB’E Korea bali mu kugaba musaayi okumala ennaku ttaano okutaasa bannaabwe abakwatibwa ekirwadde kya Corona.

Omubaka Amelia Kyambadde nga yeegasse ku batuuze okukola bulungibwansi

Abakulembeze mwongere amaan...

EKIBIINA ky'obwannakyewa kikulembeddemu abatuuze b'e Mpambire ne bakola bulungibwansi omubaka Amelia Kyambadde...

Omugenzi Maj. Gen. Eric Mukasa

Kabaka atenderezza munnamag...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II akungubagidde omugenzi Maj.Gen. Eric Mukasa gwayogeddeko ng’omu ku bavubuka abazira...

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...