TOP

Muganda we yali RDC attiddwa

Added 29th April 2020

Muganda we yali RDC attiddwa

 Bagoole

Bagoole

ABADDE amyuka akulira essomero lya Canon Ibula P/S e Iganga, Emmanuel Bagoole 46 yattiddwa mu kiro ekyakeesezza ku Mmande.

Bagoole muganda we yali omubaka wa Pulezidenti e Jinja, Richard Gulume Balyaino ng'omulambo gwe gwasangiddwa mu Mutambala zzooni e Iganga nga guliko ebiwundu by'ebiso mu bulago n'omubiri gwonna. Omugenzi abadde asula Nampirika mu ggombolola y'e Nakalama w'abadde ava okugenda ku ssomero.

Muganda w'omugenzi, Charles Nkazi yagambye nti omugenzi abadde alina obutakkaanya ne mukyala we nga n'ensonga baazitwala mu LC kyokka ne zibalemerera okugonjoola. Omulambo gwatwaliddwa mu ggwanika e Iganga okwekebejjebwa.

Akulira poliisi y'e Iganga, David Ndaula yagambye nti waliwo omuntu eyakwatiddwa okubayambako mu kubuulirizza.

Kyokka abaffamire oluvannyuma baakizudde nti mukyalka w'omugenzi Shamim Nabirye ye yakwatiddwa okuyamba ku poliisi mu kunoonyereza kwayo.

Akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y'e Iganga Backer Kasadakawo yennyamidde olw'okufa kw'omusomesa waabwe n'ategeeza nga bwe bagenda okukulembera enteekateeka z'okumuziika e Bulanga mu Luuka. N'agamba nti abadde amaze emyaka 20 ng'asomesa.

Akulira okulondoola amasomero mu Iganga, Benard Kabambwe yagambye nti omugenzi y'omu ku basomesa mu disistulikiti y';e Iganga abaabadde balondeddwa okusomesa abayizi ku ttivvi ne leediyo mu biseera bya kalantiini. N'agamba nti bafiiriddwa omusomesa abadde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...