TOP

Owa Mugisha Muntu afiiridde mu nnyumba

Added 29th April 2020

Owa Mugisha Muntu afiiridde mu nnyumba

 Alimadi (ku ddyo) ng’atabukira eyali DPC wa CPS James Ruhweza mu 2012.

Alimadi (ku ddyo) ng’atabukira eyali DPC wa CPS James Ruhweza mu 2012.

OMUWANDIISI w'ekibiina kya Alliance For National Transformation (ANT) ekikulemberwa Gen. Mugisha Muntu, era nga y'avunaanyizibwa ku nsonga z'amawanga amalala, Barbara Alimadi, asangiddwa ng'afiiridde mu nnyumba ye e Kiwaatule, mu Divizoni y'e Nakawa.

Kkansala akiikirira Nakawa ku lukiiko lwa KCCA, Happy Nasaasira, yategeezezza Bukedde, nti omugenzi mu nju abadde asulamu yekka era nga tabadde na bulwadde bwonna bumuluma.

Omugenzi yayatiikirira nnyo mu mwaka gwa 2012, lwe yalumba Poliisi ya CPS mu Kampala ne banne okwali; Winfred Nakajubi, Aisha Nagudi, Happy Nasasira, Teo Namutebi ne Harriet Nakiyemba, nga baagala poliisi ebannyonnyole ensonga eyali ebaleetedde okutyoboola munnaabwe Ingrid Turinawe, gwe bagamba nti poliisi yamunyiga ebbeere, bwe yali emulemesa okugenda e Nansana mu lukuhhaana olwali lutegekeddwa bannakisinde kya ‘For God and My Country' Alimadi abadde mulwanirizi wa ddembe ateerya ntama era ng'ajjukirwa lwe yeesimba mu eyali Katikkiro wa Uganda, John Patrick Amama Mbabazi, ng'ayagala alekulire ekifo ekyo.

Yategeka okwekalakaasa ku National Theatre mu Kampala, oluvannyuma poliisi n'emukwata n'aggalirwa ku CPS, ne banne abalala be yali nabo. Abadde yasoma bwayinginiya, era ng'abulinamu ddiguli, gye yafunira e Bungereza gye yamala emyaka egisoba mu musanvu.

W'afiiridde nga baakamutikkira ddiguli eyookubiri mu by'eddembe ly'obuntu ku yunivasite e Makerere. Yazaalibwa omwami n'omukyala Erifasi Otema Alimadi. Taata we yazaalibwa mu February 1929, e Patiko, mu Disitulikiti y'e Gulu.

Ku mulembe gwa Obote II, yalya ekifo ky'obwa Katikkiro wa Uganda era nga y'omu ku bakulembeze abaali bava mu bitundu by'omu mambuka abaava mu buwanganguse ate ne beegatta ku ggye lya NRA (National Resistance Army) Yateranga okutwala abaana bannauganda okusoma emitala w'amayanja era nga yaliko omubaka mu kibiina ky'amawanga amagatte (UN), (US), ne ku kitebe kya Uganda mu Canana okutuusa mu mwaka gwa 1971, Pulezidenti Idi Amin Dada, lweyawamba gavumenti ya Milton Obote.

Kitaawe we yali musajja wamaanyi era ng'ebiseera ebisinga omuggo n'enkofiira ku mutwe, byali tebimuvaako, Y'omu kubatandikawo ekibiina kya Uganda National Congress (UNC ) era yali omu ku bantu abataano abaalondebwa okukulira ekitebe ekikwatibwako ensonga z'ebweru mu lukiiko olwatuula e Moshi, mu Tanzania.

Mu 1964, yaliko omumyuka w'omubaka wa Uganda mu ky'amawanga amagatte (UN) era nga y'omu ku baayogereza Buganda obutasaba bwetwaze bwayo yokka ne basobola okukkiriza okusaba obwetwaze obwa Uganda yonna

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebimuli bya Hibiscus.

Abasuubula Hibiscus bayingi...

ENNAKU zino abantu bafaayo nnyo ku bulamu bwabwe nga kino kiyinza okuba nga kivudde ku ngeri ensi gy'ekulaakulanye...

▶️ Omugagga Lwasa: Mukazi w...

OMUGAGGA Emmanuel Lwasa ow'e Masaka w'osomera bino nga mugole. Ku Lwomukaaga yabitaddemu engatto ng'awerekerwako...

Abatuuze nga batunuulira awaabadde ettemu.

Abafumbo basangiddwa batemu...

POLIISI y'e Nakaseke enoonyereza engeri abaagalana ku kyalo Magoma mu ggombolola y'e Kikamulo mu disitulikiti y'e...

Omugenzi Bob Kasango

Kiki ekyasse munnamateeka w...

ENFA ya munnamateeka w'omu Kampala, Bob Kasango, erese ebibuuzo mu ba ffamire n'ababadde bamuvunaana okulya ensimbi...

Minisita Kiyimba, Noah Kiyimba ng’akwasa omuyizi Andrew Maseruka eyasinze banne ku ttendekero lya Universal Institute Of Graphics & Technology Ku Sharing Hall e Nsambya.

Minisita Kiyimba akubirizza...

ABAYIZI 110 batikkiddwa mu masomo ga Dipuloma ne satifikeeti mu ttendekero lya Universal Institute of Graphics...