TOP

Alipoota ya Twaweza esiimye Bannamawulire

Added 2nd May 2020

Alipoota ya Twaweza esiimye Bannamawulire

 Marie Nannyanzi omukwanaganya wa Twaaganya wa Twaweza ng'annyonnyola ku gw'empuliziganya ogwa Tekinologiya

Marie Nannyanzi omukwanaganya wa Twaaganya wa Twaweza ng'annyonnyola ku gw'empuliziganya ogwa Tekinologiya

BANNANSI basiimye omulimu ogukolebwa abamawulire ku kumanyisa n'okusomesa eggwanga.
 
Okunoonyereza okukoleddwa kuraze nti buli bantu 10 boosanga, munaana ku bo basiima era bakkiriza nti amawulire gakolakinene okukulaakulanya ebitundu gye bava.
 
Bino byayanjuddwa mu lipooti eyafulumiziddwa aba Twaweza East Africa mu lukung'aana lw'abamawulire lwe bakoledde ku mutimbagano mu kukuza olunaku lw'eddembe ly'abamawulire mu nsi yonna.
 
Marie Nannyanzi omukwanaganya w'emirimu mu Twaweza avunaanyizibwa ku nsonga z'abantu baabulijjo bwe yabadde ayanjula lipooti yategeezezza nti Bannayuganda bangi bakkiriza nti emikutu gy'amawulire gibayamba okutumbula obulamu.
 
Wabula abantu baawukanya endowooza bw'obabuuza ku ngeri ki gavumenti weerina okukoma mu kukugira abamawulire okwasanguza ebintu ebimu.
 
Kyokka bangi balowooza nti abamawulire balina okuweebwa eddembe okukola omulimu gwabwe bawandiike n'okuweereza ku mikutu emirala buli nsonga nga bwe bagirabye nga tewali abakuba ku mukono.
 
Olunaku lw'eddembe ly'abamawulire lwakuziddwa ku Lwokutaano May 1, 2020 ku lunaku lw'abakozi mu nsi yonna. Werutuukidde ng'abantu okwetoloola ensi yonna mu mawanga mangi ekirwadde kya coronavirus kibagoya.
 
Olunaku lw'abakozo werutuukidde ng'amawanga mangi galagidde abantu okusigala mu maka gabwe tebasobola kwetaayo n'abamu okugobwa ku mirimu.
 iolet linda Violet Alinda

Bano abaggaliddwa awaka balaba amawulire ng'omukutu gwe balinawo okubayambako okutuusa eddoboozi lyabwe eri gavumenti ku nsonga zebaagala okugitegeeza n'okusiiga ekifaananyi ekituufu ku mbeera gye bayitamu mu kiseera kino ekyakanyigo.

 
Abantu bwe baabuuziddwa ku bukugu bw'abamawulire, ebitundu 58 ku 100 bakkiriza nti abamawulire bakozesa bukugu na butendeke nga baweereza.
 
Abagamba nti amawulire bye gaweereza byesigika era bituufu bali ebitundu 56 ku 100. Abakkiriza nti batunula abantu abamaanyi mu mmunye ne bababuulira ekituufu bali ebitundu 51 ku 100.
 
Kyokka abantu ebitundu 49 ku 10 beebakkirza nti abamawulire bakola omulimu gwabwe nga tebalinaamu kyekubiira.
 
Bannayuganda ebitundu 53 ku 100 beegomba okulaba ng'abaana baabwe batendekebwa okusoma omulimu gw'okufuuka abamawulire.
 
Okunoonyereza kwa Twaweza kwe batuumye Sauti za Wananchi kuzudde nti abantu basing kuwuliriza radio buli bantu basatu ku bana bawuliriza radio nga bano bakola ebitundu 74 ku 100. Kuno baddako okulaba TV n'okusoma emikutu ng'empapula ne website.
 
Violet Alinda, akulira Twaweza mu Uganda agamba nti nga tukuza eddembe ly'abamawulire tusaanye okufumiitiriza ku biseera bino ebizibu n'okujjukira nti omuntu aweebwa eddembe okufuna amawulire gaalina okumanya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omugagga Ham eyakulembeddemu bannanyini bizimbe mu lukiiko ne Amelia Kyambadde

Bannanyini bizimbe balemedd...

AKAKIIKO kebassaawo okubaga ebinaagobererwa kisobozese okuggulawo akeedi z’omu Kampala kamalirizza lipooti eno...

Jackson Musisi kitunzi w'essaza lya Gomba ku kkono ng'akwasa Mansoor Kamoga obuvunaanyizibwa bw'essaza

Aba ttiimu y'essaza lya Gom...

OLUVANNYUMA lw’ Essaza lya Gomba okusaasaanya ssente empitirivu mu kugula abazannyi, abakungu baalyo bafunyemu...

Omutendesi Bamweyana ng'assa ku ndagaano omukono

Omutendesi Bamweyana olwega...

OMUTENDESI omuggya owa Wakiso Giants FC mu Star times Uganda Premier League, Douglas Bamweyana asuubizza omupiira...

Bryan White kati asizza ku ku byuma

Bryan White mulwadde muyi: ...

Bryan White mu kiseera kino asizza ku byuma amaze wiiki biri mu ddwaaliro ly'e Nakasero kyokka embeera ye ekyagaanye...

Kato Lubwama nga tebannamulongoosa

Omubaka Kato Lubwama bamulo...

OMUBAKA Kato Lubwama ( Lubaga South) amaze essaawa ssatu mu sweeta ng'abasawo bamulongoosa n'okumwekebegya omulundi...