TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi eyigga eyayokyezza ow'emyaka 9 lwa ssente 4000/-

Poliisi eyigga eyayokyezza ow'emyaka 9 lwa ssente 4000/-

Added 4th May 2020

Poliisi eyigga eyayokyezza ow'emyaka 9 lwa ssente 4000/-

 Herbert Muyanja eyayokeddwa

Herbert Muyanja eyayokeddwa

POLIISI y'e Gomba eri ku muyiggo gwa muvubuka akkakkanye ku mutoowe n'amuvumbika engalo mu kyoto lwa 4,000. 

Anoonyezebwa ye Buyengo (20) omutuuze w'e Bunyinywa mu ggombolola y'e Kabulasoke mu disitulikiti y'e Gomba lwa kukkakkana ku mwana owooluganda lwe Herbert Muyanja 9 n'amuvumbika engalo mu Kyoto ne zijja lwa kubuza ssente  4000 eza jjajjaabwe. 

Muyanja okwokyebwa engalo kiddiridde Jjajjaawe Mary Nalukwago 75 ow'e Kakipuya mu ggombolola y'e Kabulasoke okumutuma ku dduuka okugulayo mukene wa 1,000/ kyokka ssente ze baamuddizza (4000/) ne zimugwako ekiwalirizza mukulu we Buyengo okumuyisamu empi oluvannyuma n'amutwala mu kiyungi n'amuvumbika engalo mu Kyoto nga bw'amubuuza gy'atadde bbalansi. 

Nalukwago awulidde miranga mu kiyungu n'adduka okutaasa asanze omwana aleekanira waggulu n'amutaasa kyokka ng'engalo ziyidde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Agugulana ne KCCA atiisizza...

HAJJI Rashid Ssenyonjo Musisi atiisizza okukung'anya famire ye batuule mu luguudo ompi n'amayumba ge e Lweza...

Trump anywezezza ebyokwerin...

Abaserikale abamukuuma beebulungudde White House okuva mu ggye erimanyiddwa nga The Washington, DC National Guard,...

 Mwamula Juma, the UPTU General Secretary speaking the press in Kampala. Looking on is a member of UPTU. Courtesy photo

Uganda Private Teachers Uni...

Mwamula Juma, the UPTU General Secretary said the government directive is more of a populist voice than a realistic...

 Kayiwa

Munnamakolera asabye Gav't ...

MUNNAMAKKOLERO Steven Kayiwa nga y'akiikirira Bannamakkolero mu lukiiko lwa Buganda olukulu asabye gavumenti eyawakati...

Bagabidde abakozi b'Abachin...

MINISITULE y'ebyobulamu egabidde abakozi mu b'omu nnimiro z'abachina abalimira omuceere mu Lwera n'abavubi b'oku...