TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Akulira bannakibiina kya NRM ebweru w'eggwanga adduukiridde abakoseddwa covid 19 e Luweero

Akulira bannakibiina kya NRM ebweru w'eggwanga adduukiridde abakoseddwa covid 19 e Luweero

Added 4th May 2020

Akulira bannakibiina kya NRM ebweru w'eggwanga adduukiridde abakoseddwa covid 19 e Luweero

Hajji Walusimbi ng'agaba emmere

Hajji Walusimbi ng'agaba emmere

SSENTEBE wa disitulikiti ya Luweero Ronald Ndawula asiimye abantu olw'okwerumya ne bagondera amateeka g'okulwanyisa corona virus n'aberekerezza okuyamba abakoseddwa n'abali mu buzibu olw'ekirwadde kino.

Yasinzidde ku kitebe kya disitulikiti e Luweero ng'akwasibwa ttani z'obuwunga munaana okuva eri akulira banna NRM abali ebweru w'eggwanga Haji Abbey Walusimbi ng'ali wamu ne mikwano gye omuli Cedrick Singleton owa kampuni ya Black Market Records USA etumbula abayimbi n'omuyimbi Angella Katatumba n'agamba bwe banaakwatira awamu n'okugondera ebiragiro by'abasawo ekirwadde bajja kukituula kunfeete.

Ndawula yasiimye abantu sekinnoomu n'amakampuni agazzenga gabawa obuyambi bwe batuusa ku bantu kyokka n'asaba gavumenti okwongera okubadduukirira kuba obwetaavu bukyali bungi era abantu bagira kubalyamu maaso nga babakanda emmere.

Haji Walusimbi yategeezezza nti akyakunga banne okwongera okuleeta obuyambi nga baanukula omulanga gwa pulezidenti Museveni bannayuganda baleme kufa njala mu kiseera kino ekya covid 19 n'asiima abantu olw'okukozesa akaseera kano ne balima emmere n'abaana baabwe ekigenda okulwanyisa enjala n'obwavu ng'ate bwe bayiga emirimu kuba ebiseera ebisinga babaddenga mu masomero.

Yagambye nti emmere ayagala eweebwe bannaddiini kuba be basinga okumanya abali obubi n'abantu naddala mu byalo abasinze okukosebwa naddala abakadde, abaliko obulemu n'endwadde endala nga mukenya.

Hajji Walusimbi yateegezezza nti  ku Lwokutaano lwa wiiki eno agenda Mbale  ne Buduuda okutwalira abaayo obuyambi bw'emmere n'oluvannyuma  ayolekera Gulu gy'anaava okugenda e Masaka, Butamba ne Gomba okutwalira abantu obuyambi bw'emmere gy'abasakidde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kizza Senninde

Bba wa minisita Rosemary Se...

ZEFANIYA Kizza Senninde nga ye bba wa minisita omubeezi ow'ebyenjgiriza ebisookerwako, Rose Nansubuga Senninde...

Abamu ku baagala okufuna tikiti nga balwanira ku kitebe kya NUP.

Aba Bobi Wine bayomba lwa l...

OLUTALO luzzeemu ku kitebe ky’ekibiina kya Bobi Wine ekya National Unity Platform e Kamwokya nga luva ku lukalala...

Liverpool eyagala Mbappe

OKUZIMBA ttiimu ejojobya Bulaaya, omu- tendesi wa Liverpool, Jurgen Klopp abikwasizza maanyi.

Bashemera n’abaana be. Okuloota ng’ofunye omulimu mu nsi z’ebweru n’ogugaana kitegeeza ki? Nze Gift J e Makerere. Kikulabula obutalowoolereza mu bintu ebiri

Muggya wange yatta bbaffe n...

OKUFA kwa baze kwankuba wala katono ngwe n’eddalu. Abasawo baakola kya maanyi okumbudaabuda n’okunzizaamu essuubi...

Bobi Wine (wakati) lwe yali ne Latif Ssebaggaka (ku kkono) ne Chameleone (ku ddyo).

Kitegeeza ki Latif okuva mu...

LATIF Ssebaggala okuva ku kuvuganya ku kifo kya Loodi Meeya kiddiridde enteeseganya z’abavuganya Gavumenti ne bakkaanya...