TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mmengo yeewozezzaako ku by'enguzi okuva ewa Museveni

Mmengo yeewozezzaako ku by'enguzi okuva ewa Museveni

Added 4th May 2020

MMENGO erabudde abavubuka okukozesa obulungi omutimbagano mu kiseera kino kubanga okugukozesa obubi kyakubasuula mu mitawaana okuli n’okusibibwa amateeka g’eggwanga.

Okuwabula kuno kwakoleddwa Minisita w'amawulire era omwogezi w'Obwakabaka Noah Kiyimba bweyabadde ayogera ku ky'okusibwa kw'omuvubuka Munnamateeka Jonathan Mwesigwa eyakwatibwa poliisi ku lwokuna lwa wiiki ewedde.

 

Okukwatibwa kwa Mwesigwa kwaddirira ekiwandiiko kyeyawandiika nga April 18,2020 nga kiriko omutwe ogugamba nti ‘MMENGO CHOSE CARS OVER ‘FEDERO' TO FIGHT COVID-19 ekivvunulwa nti Mmengo yalondawo kutwala mmotoka mu kifo kya federo mu lutalo lw'okulwanyisa Cocid-19.
 
"Ekiwandiiko kino poliisi evunanyizibwa ku nkozesa ya kompyuta n'omutimbagano bweyakiraba kwe kusalawo okunoonya omukulu ono,ayongere okugiwa obukakafu ku byeyawandiikako era si ffe abagambye akwatibwe," Kiyimba bweyanyonyodde.
 
Mu bimu Mwesigwa byeyawandiikako kuliko okutegeeza ng'ensisinkano Kabaka Mutebi II mweyakyaliza Pulezidenti wa Uganda,Yoweri Museveni mu Lubiri e Banda nga February 5,2019 nga bweyawa Obwakabaka ekyojjamumiro ky'emmotoka kkumi n'emu nga ku zino munaana za kika kya Toyota Land Cruiser ate endala ssatu zaali za kika kya Toyota TX Prados nti kyokka zino tezayanjulwa ng'emu ku ddiiru ezakutulwa kwoolwo.
 
"Mmego esaanye ejjukire nti Buganda erina federo esobola bulungi okwegulira emmotoka ez'omulembe nga Rolls Royce,Mercedes Benz,Bentley n'endala okusinga zino zeyafunye. Federo yandibadde etuyamba (nga Buganda) okulwanyisa obulwadde buno obwa ssenyiga omukambwe.
 
Ebirala ebyaava mu nsisinkano eno kwekukendeeza Kabineti ya Kabaka n'esigalamu abo abeekiriranya bokka era singa obukulembeze obuli e Mmengo mu kiseera kino buswaala bwandibadde bwalekulira olw'engeri gyebuleseemu abantu baabwo okufugibwa obumbula abakulembeze ba Uganda,"ebimu ku bigambo bya Mwesigwa bwebisoma.
 
Wabula Kiyimba yagambye nti okukwatibwa kwa Mwesigwa kwabakoze bulungi ayongere okutangaaza ensi byayogera ku nguzi era na ddi Obwakabaka lwebwaali buvudde ku ky'okulwanirira enfuga ya Federo.
 
"Naffe tulinze poliisi byanagibulira kubanga Kabaka taweebwa nguzi. Eggwanika lyeryagula emmotoka za Baminisita ate tebuvanga ku kyakulwanirira nfuga ya federo mu Uganda nga munnaffe oyo bweyalaze," Kiyimba bweyatangazizza.
 
Ssabawolereza wa Buganda, Christopher Bwanika yategezezza Bukedde nti ekiwandiiko kya Mwesigwa bwekimala okufuluma ku ‘Facebook' nga April 22,2020 yatuukirirwa abantu ab'enjawulo wamu ne Poliisi ebuliriza ku buzzi bw'emisango gy'emitimbagano nti oba ddala kituufu emmotoka zebavulumula,kyojjamumiro okuva ewa Pulezidenti Museveni.
 
"Nabategeeza nti ago amawulire makyaamu era nze sikiwulirangako oba okukimanyaako kuba emmotoka yange ngisasulira mu bitundu buli mwezi. Ate Obwakabaka tebuvanga ku kubanja nfuga ya federo. Obukulembeze bw'Obwakabaka tebulya nguzi era tebuweebwangako nguzi,"Bwanika bweyategezeeza.
Bwetyo poliisi yanoonya Mwesigwa era naggulwako omusango ku nnamba 375/2020 ku kitebe kya CID e Kibuli.

Mwesigwa mutabani w'Omulabirizi wa West Buganda,Henry Katumba Tamale era yaliko omuyambi w'Omuwabuzi mu Lubiri,Apollo Nelson Makubuya bweyali akyaali minisita e Mmengo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...

Paasita Ssennyonga ng'agugumbula Yiga mu lukung'aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku kkansisa ye

Okufa kwa Yiga kusajjudde e...

AKATAMBI Pasita Ssenyonga ke yakutte nga Yiga tannafa kongedde okusiikuula abasumba ne beetemamu ng’abamu boogerera...