TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bp. Ssebaggala adduukiridde abaliko obulemu e Mukono

Bp. Ssebaggala adduukiridde abaliko obulemu e Mukono

Added 6th May 2020

Omulabirizi w’e Mukono, James William Ssebaggala yadduukiridde abaliko obulemu mu disitulikiti y’e Mukono n’emmere y’akawunga ka kkiro 500.

 Bp. Ssebaggala n'abamu ku bakulembeze b'abalema.

Bp. Ssebaggala n'abamu ku bakulembeze b'abalema.

Bp. Ssebaggala ng'akwasa abakulembeze b'abalema akawungaa kano mu maka ge ku Lwokubiri yagambye nti yabawadde katono olw'okuba nti abadde yaaakawaayo ttani z'akawunga 2 eri ttasiki ffoosi ya Mukono erwanyisa COVID 19 n'okukungaaanya obuyambi ate yabadde ali awo bano ne beekubira enduulu gy'ali ngaa bagamba nti abalema bafa enjala.

"Nsaba mutandikire awo ate bwe tuliba tulina kye tufunye ekirala tulibongera. Wabula nga muwa bannammwe emmere mubagambe bafune eky'okuyiga mu mbeera eno. Bulijjo baleme kwemalira mu kusabiriza wabula mu mbeera gye balimu babeeko bye bakola kuba kati teri n'ayinza kuyimirira ku luguudo kusabiriza," bwe yagambye.

Abakulembeze abaakwasiddwa emmere kuliko; Ramathan Lubowa kkansala w'abaliko obulemu mu munisipaali y'e Mukono, Abdul Nsubuga Majala ow'abaliko obulemu ku disitulikiti ne Fred Migadde.

Majala yasiimye omulabirizi Ssebaggala olw'okudduukiriranga abaliko obulemu bulijjo n'asaba ne bannaddiini abalala okumulabirako babadduukirire naddala mu mbeera eno embi ng'abamu bali waka n'eky'okulya tebakiraaba.

 p sebaggala ngakwasa abakulembeze babalema akawunga Bp. Ssebaggala ng'akwasa abakulembeze b'abalema akawunga.

 

Ye Lubowa yalaze okunyolwa okulaba nga wadde disitulikiti ezze ekungaanya obuyambi okuva mu bantu ab'enjawulo, amakampuni ssaako aba Red Cross gavumenti be yansindika e Mukono okuyambako mu kugaba emmere eri abali mu bwetaavu, bbo ng'abalema tebalina ke baali bafunye n'okutuuka kati.

"Twali tumantyi nti abalema okuli ne baannaaffe abeekululira wansi be bakulembera bwe twogera ku batalina mwasirizi, ate kati ani atalina mwasirizi abakulu gwe bali mu kuvujjirira emmere gye bakungaanya!" Lubowa bwe yeebuuzizza.

Wabula mu kwanukula, RDC w'e Mukono Fred Bamwine yagambye nti abaliko obulemu mu nteekateeka yaaabwe babadde tebannabatuukako wadde nga baakutuukibwako mu maaso eyo.

Migadde yategeezezza nti abalala abakoseddwa mu mbeera eno be baana abalina obulemu ku mibiri okuli n'abagwa ebigwo nga balina amakerenda ge bamira buli lunaku naye ng'ate oli bw'alimira nga taalidde limukola bubi sso n'obutalimira abeera ku buzibu kati nga bali mu masanganzira eky'okukola bazaadde baabwe tebakirina.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bugembe ng'abuulira enjiri mu kusabira omugenzi Yiga.

Jjengo tolwana ntalo za kit...

Omusumba w'Ekkanisa ya Worship House e Nansana akubirizza Omusumba w’Ekkanisa ya Revival Christian Church Kawaala,...

Abakuumaddembe nga bakunguzza omuvubuka.

Abaabadde bakola effujjo mu...

Abavubuka abaagenze mu kuziika omugenzi Pasita Yiga Abizzaayo e Kawaala ku Lwomukaaga kyokka ne badda okunoonyeza...

Abatuuze nga basobeddwa mu lusuku lwa munnaabwe olwasaayiddwa.

Abantu ab'ettima basaayidde...

ABANTU ab'ettima abatannaba kutegeerekeka bakakkanye ku lusuku lw'omutuuze Jane Namakula 45, ow'e Kyassenya oluwezaako...

Katikkiro Mayiga awabudde a...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awabudde Abasumba b'Abalokole okukomya okwerumaaluma. Yabadde agenze...

Abakyala nga bagabana ssente ze bazze batereka.

Omuntu anaakulaakulana alin...

ABAKUGU bagamba nti omuntu anaakulaakulana alina okweresa n’afissa ku ssente z’afuna n’atereka okusobola okugaziya...