TOP

Amataba gasazeeko ab'e Galiraaya mu Kayunga

Added 13th May 2020

ABATUUZE mu ggombolola y'e Galiraaya mu disitulikiti y'e Kayunga bakaaba olw'amataba agaasazeeko ekitundu kyabwe.

 Abakozesa oluguudo okuva e Kawongo mu Galiraaya mu Kayunga nga batudde mu lyato oluvanyuma lw'amazzi okwanjaala ne gajjawo oluguudo. Ekif; SAUL WOKULIRA

Abakozesa oluguudo okuva e Kawongo mu Galiraaya mu Kayunga nga batudde mu lyato oluvanyuma lw'amazzi okwanjaala ne gajjawo oluguudo. Ekif; SAUL WOKULIRA

ABATUUZE mu ggombolola y'e Galiraaya mu disitulikiti y'e Kayunga bakaaba olw'amataba agaasazeeko ekitundu kyabwe.

Emiruka ebiri gikoseddwa nnyo era abantu badduse mu mayumba olw'amazzi era amazzi gamenye entindo amazzi ne ganjaala mu nguudo.

Mu kiseera kino n'oluguudo olunene olutuuka e Kawongo ku nyanja Kyoga amazzi galusazeeko nga mu kiseera kino basomokera ku maato ku shs. 200 buli lugendo.

Amazzi gaavudde ku mugga  Kiyira okubooga amazzi ne gayingirira abantu ne gajjula ne mu nguudo.

Abalimi n'abasuubuzi bagamba nti emirimu gyabwe gyesibye era n'ebintu bivunze.

Balaajanidde gavumenti ebadduukirire n'amatundubaali bakole wema mwe banaasula n'abaana wamu n'emmere kubanga ennimiri amazzi gaazitutte.

Omubaka wa Bbaale mu palamenti atuuse mu kitundu n'akubira aba UNRA essimu ne bamusuubiza okuleeta eryato okusaabaza abantu ku bwerere.

Kumama agambye nti bakyalinda amazzi gakendere UNRA eddemu etindire oluguudo lwa Kkanda emmotoka ziddemu okutambula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Agugulana ne KCCA atiisizza...

HAJJI Rashid Ssenyonjo Musisi atiisizza okukung'anya famire ye batuule mu luguudo ompi n'amayumba ge e Lweza...

Trump anywezezza ebyokwerin...

Abaserikale abamukuuma beebulungudde White House okuva mu ggye erimanyiddwa nga The Washington, DC National Guard,...

 Mwamula Juma, the UPTU General Secretary speaking the press in Kampala. Looking on is a member of UPTU. Courtesy photo

Uganda Private Teachers Uni...

Mwamula Juma, the UPTU General Secretary said the government directive is more of a populist voice than a realistic...

 Kayiwa

Munnamakolera asabye Gav't ...

MUNNAMAKKOLERO Steven Kayiwa nga y'akiikirira Bannamakkolero mu lukiiko lwa Buganda olukulu asabye gavumenti eyawakati...

Bagabidde abakozi b'Abachin...

MINISITULE y'ebyobulamu egabidde abakozi mu b'omu nnimiro z'abachina abalimira omuceere mu Lwera n'abavubi b'oku...