TOP

Poliisi ekutte Paasita n'abagoberezi 23

Added 13th May 2020

POLIISI ekutte abalokole 23 abasangiddwa mu kkanisa emisana nga basaba.

 Omusirikela Kyomuhendo nga akebera abamu ku baakwatiddwa nga tebannayingizibwa mu kaduukulu. Ekif; SAUL WOKULIRA

Omusirikela Kyomuhendo nga akebera abamu ku baakwatiddwa nga tebannayingizibwa mu kaduukulu. Ekif; SAUL WOKULIRA

POLIISI ekutte abalokole 23 abasangiddwa mu kkanisa emisana nga basaba.

Abakwatiddwa babadde mu kkanisa ya Rivers Christian Church International esangibwa e Ntooke mu disitulikiti y'e Kayunga.

Bakwatiddwa wamu n'akulira ekkanisa eno Nabbi Kevina Nakalembe era ono yagguddwa omusango gw'okukung'anya abantu mu ngeri emenya amateeka n'okukontana n'ebiragiro bya pulezidenti Museveni byeyayisa okutangira okusasana kwobulwadde bwa COVID-19.

Abakwatiddwa kuliko abasajja mukaaga n'abakazi 17 era nga poliisi ebasanze mu kusaba kw'omu ttuntu okumanyiddwa nga "Lunch hour".

Poliisi eyazizza omu ku omu ne bayingizibwa mu kaduukulu.

Nabbi Kevina Nakalembe ategeezezza Bukedde nti babadde mu kusaba okwokwogayirira abantu bafune emmere kubanga bangi bafa enjala.

Omuduumizi wa poliisi e Kayunga John Lukooto agambye nti abakwatiddwa n'omukulembeze wabwe bonna baakutwalibwa mu kooti bavunaanibwe emisango egy'okuyisa olugaayu mu biragiro bya pulezidenti Museveni byeyayisa okuziyiza okusasana kw'obulwadde bwa COVID-19.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Agugulana ne KCCA atiisizza...

HAJJI Rashid Ssenyonjo Musisi atiisizza okukung'anya famire ye batuule mu luguudo ompi n'amayumba ge e Lweza...

Trump anywezezza ebyokwerin...

Abaserikale abamukuuma beebulungudde White House okuva mu ggye erimanyiddwa nga The Washington, DC National Guard,...

 Mwamula Juma, the UPTU General Secretary speaking the press in Kampala. Looking on is a member of UPTU. Courtesy photo

Uganda Private Teachers Uni...

Mwamula Juma, the UPTU General Secretary said the government directive is more of a populist voice than a realistic...

 Kayiwa

Munnamakolera asabye Gav't ...

MUNNAMAKKOLERO Steven Kayiwa nga y'akiikirira Bannamakkolero mu lukiiko lwa Buganda olukulu asabye gavumenti eyawakati...

Bagabidde abakozi b'Abachin...

MINISITULE y'ebyobulamu egabidde abakozi mu b'omu nnimiro z'abachina abalimira omuceere mu Lwera n'abavubi b'oku...