
Omubaka Migadde ng'ayogera emabega kye kitundu ky'ekisamba ekiri ku nnyanja e Buvuma ekiseeyeeya okugenda e Jinja.
Ekizinga kino ekiwezaako yiika nga 5 kyasangiddwa wakati w'ebizinga okuli; Lyabaana, Bugaya ne Muwama ku nnyanja Nalubaale mu disitulikiti y'e Buvuma ku Lwokusatu.
Abakulembeze okuli omubaka wa palamenti ow'ebizinga by'e Buvuma, Robert Migadde Ndugwa, minisita w'eby'obulamu ku disitulikiti y'e Buvuma, Harriet Nakizito Musiho n'omusawo Muhammad Nviiri be baasanze ekizinga kino bwe babadde mu kutalaaga ebizinga ku mirimu emitongole egy'okusomesa ku kirwadde kya COVID 19.
Migadde yagambye nti olw'okuba ekisamba kino kinene nnyo ate nga kiseeyeeya kidda Jinja, baafunye okutya nti kyandirumba amabibiro g'amasannyalaze okuli erya Owen Falls ne Bujagali ne kigazibikira ne kiviirako ebyuma ebikola amasannyalaze okukosebwa eggwanga lituuke okulemwa okufuna amasannyalaze nga bwe gwali omwezi oguwedde.
Omwezi oguwedde omukulembeze w'eggwanga Yoweri Kaguta Museveni bwe yali agenda okwogerako eri eggwanga ku nsonga za COVID 19 amasannyalaze gavaako mu Uganda yonna ekyaleetawo okutya kyokka abakugu ne balaga ekisamba ekyali kigobye mu ddaamu nti kye kyali kivuddeko ekizibu.
Okuva kw'olwo Pulezidenti Museveni azzenga agenda e Jinja n'alambula omulimu gw'okusena ekisamba kino wa we gutuuse.
Yasabye minisitule y'amasannyalaze n'abakugu abakola ku by'okugogola ebisamba ebyalumba amabibiro ate okwanguyira ekisamba kino nga kikyali wala kireme kuleeta buzibu bwamaanyi ate obuyinza okukosa eggwanga mu ngeri ez'enjawulo.
Musawo Nviiri yagambye nti ekisamba kino kirabika okuba nga kiwezaako yiika nga 5 nga kinene n'okusinga ekyasooka okugoba e Jinja ku Owen Falls Dam.
Yannyonnyodde nti mu kiseeera kino olw'empewo ennyingi ku nnyanja, bazzenga basanga obusamba obuseyeeya ku nnyanja kyokka nga bubeera butono ng'ekibatiisizza kwe kusanga ekinene ennyo kye balowoozezza nti kiyinza okubeera eky'obulabe eri eggwanga ssinga tebakyanguyira.
Kkansala Nakizito yagambye nti gavumenti yeetaaga okwanguyira ekizinga kino nga tekinnaba kutuuka wala ate gye kiyinza okubeerera eky'obulabe.
Yategeezezza nti basuubira nti ekizinga kino kyakutuse okuva ku lukalu mu ggwanga ly'e Tanzania oba mu bizinga by'e Koome mu disitulikiti y'e Mukono nga kino era kivudde ku buttonde bw'ensi obususse okutyoboolebwa ensangi zino.
Waliwo n'omu ku bavubi Hendrin Lukwago eyasangiddwa ne munne mu lyato nga bazze okulaba ku kizinga kino n'agamba nti ekisamba kino baakirabye ku makya ssaawa ng'emu ate ne baddamu okukisanga nga kitambudde kigenda wakati w'essaawa nga 11:30 olw'eggulo.