TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Amyuka RDC n'ayambibwako Poliisi bazinzeeko loogi n'amabbaala ebibadde bikola mu nkukutu

Amyuka RDC n'ayambibwako Poliisi bazinzeeko loogi n'amabbaala ebibadde bikola mu nkukutu

Added 16th May 2020

AMYUKA omubaka wa Gavumenti e Kalungu Hajat Sarah Nanyanzi ng'ayambibwako abakuumaddembe akoze ebikwekweto mu loogi n'amabbaala ebibadde bikola mu nkukutu.

AMYUKA omubaka wa Gavumenti e Kalungu Hajat Sarah Nanyanzi ng'ayambibwako abakuumaddembe akoze ebikwekweto mu loogi n'amabbaala ebibadde bikola mu nkukutu. 

Bino baddewo mu kiro ekikeesezza olweero ku Lwomukaaga mu kabuga ke Lukaya mu Kalungu.

Hajat Nanyanzi abadde n'akulira poliisi e Lukaya ASP Viane Birungi ng'ebikwekweto byegatiddwamu amaggye okuva mu nkambi y'e Kasijagirwa n'abeggye ezibizi. 

Mu loogi n'ebbaala eya Central View ey'omugagga Muwonge basanze eggaddwa mu maaso kyokka nga munda ekola. 

Bakwatiddemu abasajja kyokka nga Bamalaaya batoloseddwa abagikolamu ne babayisa mu bulyango obw'emmanju ne badduka ekibabu. 

Wadde ng'abakwate bagezezaako okwewoleeza kyokka Deputy RDC Hajat Nanyanzi abatabukidde n'alagira batwalibwe ku Poliisi olw'okujeemera ebiragiro bya Pulezidenti ebyaggalawo loogi n'ebbaala olw'okutangira okusasaanyizibwa kwa Ssenyiga omukambwe owa Coronavirus. 

Bya Ssennabulya Baagalayina

 

alt=''

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakyala nga basanyukira Ashraf Nasser owa NRM awangudde ekya meeya wa jinja Southern division.

Owa NRM awangudde obwameeya...

ASHRAF Nasser ow'ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) awangudde ekifo kya Meeya wa Jinja Southern Division....

Nakidde n'abawagizi be nga b'atabuse.

Bamuwadde fotokopi eriko eb...

Wabaddewo olutalo mu kulangirira obululu mu zooni ya Kironde e Kabowa,  mu munisipaali y'e Lubaga, omu ku beesimbyewo...

Nannyonjo ng'agenda okulonda n'abalongo be.

Eee...mpise mu tanuulu okuw...

Mpise mu tanuulu okuwangula owa NUP, Nnaalongo Harriet  Nanyonjo owa  NRM,  bw'alojja bye yayiseemu okuwangula...

Oulanyah

Oulanyah alangiridde okwesi...

OMUMYUKA wa Sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanyah agambye nti mwetegefu okuttunka ne Rebecca Kadaga ku kifo kya...

Capt. Zizinga waakuziikibwa...

MAJ. Olivier Zizinga 84, munnansiko eyali omuyambi wa Pulezidenti Yoweri Museveni mu nsiko gwe baalumiriza okumuwa...