TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab'e Kalungu bakkaanyizza ku bikwekweto by'abatambadde masiki

Ab'e Kalungu bakkaanyizza ku bikwekweto by'abatambadde masiki

Added 17th May 2020

ABAKAKIIKO akalwanyisa ssenyiga omukambwe owa COVID 19 mu Kalungu kakkaanyizza ku bikwekweto by'okukwasisaamu abatuuze amateeka g'okwambala Masiki oba obubikka emimmwa n'ennyindo nga bwe kyasaliddwawo abasawo.

Bakkanyizza n'okusuula emisanvu ku nsalo za disitulikiti olw'okutangira abasuubuzi b'ennyanya okuva e Kenya bawalirizibwe okusooka okubekebejja nga tebannetaba mu batuuze.

Abakakiiko abakulirwa RDC Pastor Caleb Tukaikiriza n'amumyuka Hajat Sarah Nanyanzi babikaanyirizaako mu nsisinkano gye babaddemu ku kitebve e Kalungu.

Dr. Daniel Ssentamu abakakasizza nti abasawo b'akulira bakoze butaweera okulaba nga bekenneenya ensonga zonna ezikwatagana ne COVID 19 ng'era n'okutuusa kati Kalungu tannafunayo muntu abulwadde.

Wabula abategeezezza nti okunoonyereza kwe bakoze mu Lukaya nga bayambibwako aba Rakai Project nti abamu ku bamalaaya beeyogeredde nti bakyasisinkana n'abatuleera mu bubba ne babasanyusa.

Abakakiiko balagidde omuduumizi wa Poliisi e Kalungu ASP Charles Okello n'amaggye banyikizze ebikwekweto okwetoloola disitulikiti yonna bakwasise abatuuze okwamba masiki n'ebirala.

Bya Ssennabulya Baagalayina

 

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.