TOP

Ow'emyaka 63 awasizza wa 23

Added 18th May 2020

Ow’emyaka 63 awasizza wa 23

 Bamukasa nga bakuba ebirayiro byabwe. Emabega ye musumba Sarah Mwesigwa eyabagasse.

Bamukasa nga bakuba ebirayiro byabwe. Emabega ye musumba Sarah Mwesigwa eyabagasse.

MUSAJJAMUKULU akoze embaga mu nkola ya ‘Scientific wedding' okukkirizibwa abantu abatono olw'obulwadde bwa Corona wabula gye biggweeredde ng'acankalanyizza ekyalo.

Charles Mukasa, 63, ow'e Kyengera-Nabaziza yagattiddwa ne Divian Nalunga, 23, mu bufumbo Obutukuvu ng'emikolo gyonna egy'okugatta n'okusembeza abagenyi baabwe baagikoledde mu kkanisa ya Anonah Healing Centre International Minisitries e Nabaziza.

Mukasa yategeezezza nti oluvannyuma lwa mukyala we ow'empetta okufa mu December w'omwaka oguwedde, yasaba Mukama amuwe omukyala anakkiriza okugattibwa naye mu bufumbo obutukuvu n'amuleetera Nalunga gwe yagattiddwa naye.

Agamba nti yadde Nalunga yeenkana n'abamu ku baana be takirinaamu buzibu kubanga akkiriza nti obufumbo buno kirabo ekivudde ewa Katonda.

Mukasa mulimi era omulunzi wa nkoko. ENSAASAANYA Ebyatutte ensimbi kuliko Ekkanisa n'entambula y'omusumba 200,000/-, keeki 10,000/-, ebyokulya n'ebyokunywa 150,000/-, ate okwambala n'okwewunda kw'omugole omukyala 40,000/-.

Omukolo gw'okugatta gwakulembeddwamu omusumba Sarah Mwesigwa ow'ekkanisa ya Glorious of Jesus Kitebi eyakuutidde abagole okwagalana, okwewa ekitiibwa, obugumiikiriza n'okwewala ehhambo.

Yawadde abaana ba Mukasa amagezi okumanya nti Nalunga kati ye nnyaabwe era n'abakuutira okumussaamu ekitiibwa. Olw'okugoberera amateeka ga gavumenti ku Covid-19 abantu 10 be bakkiriziddwa mu kugatta

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...