TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba AstraZeneca bakoze endagaano ne ministry y'ebyobulamu olwanyisa endwadde z'omutima

Aba AstraZeneca bakoze endagaano ne ministry y'ebyobulamu olwanyisa endwadde z'omutima

Added 18th May 2020

Aba AstraZeneca bakoze endagaano ne ministry y'ebyobulamu olwanyisa endwadde z'omutima

Abamu ku bantu nga bafuna obujjanjabi

Abamu ku bantu nga bafuna obujjanjabi

OMUWANDIISI ow'enkalakkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine agambye nti mu kiseera nga Uganda eri mu lutalo lw'okulwanyisa Coronavirus, nneetegefu okuwa Bannayuganda abalala ebyobulamu eby'omutindo.
 
Okutuukiriza kino, minisitule yebyobulamu ng'eri mu bukulembeze bwa pulezidenti Museveni baakugenda mu maaso okuteekawo ebikozesebwa, okuwa obusobozi n'obukugu obwetaagisa okulwanyisa endwadde zonna.
 
Dr. Atwine abyogedde ateeka omukono ku ndagaano n'aba AstraZeneca okuteeka mu nkola okujjanjaba endwadde z'omutima mu nteekateeka gye batuumye Healthy Heart Africa (HHA).
 
"Tuli basanyufu okwanja enteekateeka eno nga tukwataganye n'aba AstraZeneca egenda okwongera okutumbula enteekateeka za gavumenti okulwanyisa endwadde z'omutima nga puleesa" Dr. Atwine bw'aggumizza.

Ashling Mulvaney akulira enteekateeka ya Healthy Heart Africa mu AstraZeneca, agambye nti Uganda lyeggwanga ery'okutaano ku lukalu lwa Africa okutwala omukisa guno.

 
Amawanga agasooka kuliko Kenya, Ethiopia, Tanzania ne Ghana, endagaano gye bataddeko omukono eruubirira kuteeka mu nkola enteekateeka z'okutangira n'okulwanyisa ebirwadde ebiviirako omutima okunafuwa.
 
Kino baakukituukiriza nga balabula abantu ku ndya ne nneeyisa, okuyambako okutendeka abasawo abalina okuwa obujjanjabi n'okubawa omukisa okuddayo okwongera okusoma.
 
Okunoonyereza okwakolebwa mu 2014 kwe batuuma STEPwise, kulaga nti Bannayuganda ebitundu 24.5 ku 100 bakwatibwa endwadde z'omutima wabula abo abafunye omukisa ne zirabibwa nga tezinnaba kusajjuka bali  ebitundu 37 ku 100.
 
Kyokka abantu 70 ku 100 kw'abo abeetaba mu kunoonyereza baabatuukako nga tekuli n'omu yali agezezzaako okwekebeza endwadde z'omutima.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Poliisi ng’eteeka ekiwuduwudu ky’omulambo gwa Kadiidi (mu katono) ku kabangali yaayo.

Akkakkanye ku jjajjaawe n'a...

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Rwengwe II ekisangibwa mu ggombolola y’e Kinkyenkye, mu disitulikiti y’e...

Poliisi ekyanoonyereza ku b...

OMWOGEZI w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Charles Twine yagambye nti okunoonyereza...

Kenzo ne banne. Mu katono ye Bobi Wine

Kiki ekiri emabega wa Kenzo...

Lubega agamba nti ekintu kya Kenzo kyapangibwa aba People Power okumusosonkereza nga bamujooga aggweemu essuubi...

Kenzo bye yayogedde ku Bobi...

Waliwo ne Bannayuganda abali emitala w’amayanja naddala Dubai abaamusabye aleme kuddamu kulinnya mu nsi zaabwe...

Nnawasa omubanda n'antamya ...

NZE Naboth Nuwagira, 27, mbeera Kitintale. Obulamu bwange bwonna eby’abakyala saabiwanga nnyo budde nga nnoonya...