TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssaabadinkoni munyiivu ku bakozesezza omuggalo ne babba ettaka ly'ekkanisa

Ssaabadinkoni munyiivu ku bakozesezza omuggalo ne babba ettaka ly'ekkanisa

Added 19th May 2020

Ssabadinkoni w'e Kangulumira mu disitulikiti y'e Kayunga Rev. Steven Kironde mwenyamivu olw'abantu abakozesezza embeera y'omuggalo olwa COVID-19 ne banyaga ettaka ly'ekkanisa.

 Abamu ku baweereza b'e kkanisa n'emmere eyabawereddwa. Ekif;SAUL WOKULIRA

Abamu ku baweereza b'e kkanisa n'emmere eyabawereddwa. Ekif;SAUL WOKULIRA

Ssabadinkoni w'e Kangulumira mu disitulikiti y'e Kayunga Rev. Steven Kironde mwenyamivu olw'abantu abakozesezza embeera y'omuggalo olwa COVID-19 ne banyaga ettaka ly'ekkanisa.

Rev. Kironde okwenyamira akulaze bwe babadde bagabana emmere Omukulisitaayo Kenneth Kavuma gyeyawadde ababuulizi mu Busabadinkoni bw'e Kangulumira.

Kavuma adduukiridde ababuulizi n'obuwunga, amatooke ne ssabuuni n'agamba nti bbo tewali abalowoozaako sso nga amakanisa tegakyakola era bali mu bwetaavu obw'emmere n'ebikozesebwa ebirala.

Kavuma asabye Abakulisitaayo okuduukirira Abakulisitaayo kubanga bali mu mbeera mbi.

Ssabadinkoni Kironde agambye nti waliwo abantu basatu abefunyiridde okunyaga ettaka ly'ekkanisa omu yasaaye ebitooke, omulala yatemye emiti mu ttaka ly'ekkanisa ate omulala n'asimba ebiroowa era yezzizza ettundutundu ku ttaka ly'e kkanisa.

Ono era asiimye Bannamawulire olw'okumanyisa abantu ebikwata ku kirwadde kya COVID -19.

Kansala Edward Kalema n'Ababuulizi basiimye Kavuma olw'okudduukirira abawereza b'e kkanisa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Agugulana ne KCCA atiisizza...

HAJJI Rashid Ssenyonjo Musisi atiisizza okukung'anya famire ye batuule mu luguudo ompi n'amayumba ge e Lweza...

Trump anywezezza ebyokwerin...

Abaserikale abamukuuma beebulungudde White House okuva mu ggye erimanyiddwa nga The Washington, DC National Guard,...

 Mwamula Juma, the UPTU General Secretary speaking the press in Kampala. Looking on is a member of UPTU. Courtesy photo

Uganda Private Teachers Uni...

Mwamula Juma, the UPTU General Secretary said the government directive is more of a populist voice than a realistic...

 Kayiwa

Munnamakolera asabye Gav't ...

MUNNAMAKKOLERO Steven Kayiwa nga y'akiikirira Bannamakkolero mu lukiiko lwa Buganda olukulu asabye gavumenti eyawakati...

Bagabidde abakozi b'Abachin...

MINISITULE y'ebyobulamu egabidde abakozi mu b'omu nnimiro z'abachina abalimira omuceere mu Lwera n'abavubi b'oku...