TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba Uganda kwekwaffe basazizzaamu olukung'aana lwabwe e Canada

Aba Uganda kwekwaffe basazizzaamu olukung'aana lwabwe e Canada

Added 19th May 2020

Aba Uganda kwekwaffe basazizzaamu olukung'aana lwabwe e Canada

BANNAYUGANDA ababeera e Canada basazizzaamu olukung'aana lwa Uganda kwekwaffe olw'omwaka guno olw'ekirwadde kya Coronavirus.

Kassim Ssali sentebe w'olukiiko olutegeka olukung'aana era pulezidenti wa Uganda Kwekwaffe in Diaspora yategeezezza nti olw'embeera yeekirwadde ekitabangudde ensi yonna tebakyasobola kugenda mu maaso na nteekateeka eno.

Olukung'aana luno lubadde lwakubeerawo nga August 30 ne 31 mu kibuga Edmonton e Canada wabula olw'obulwadde n'ekiseera ekisigaddeyo terukyasoboka.

Abategesi baasooka kuluteekawo mu April ekirwadde wekyatabukira amawanga ne gaggala ensalo n'okusazaamu ebuuka z'ennyonyi ne balwongezaayo.

Kati Ssali agambye nti bawaliriziddwa okulwongezaayo mu April 2021 kubanga ebeera eriwo tesoboseza nteekateeka kugenda mu maaso.

Annyonnyola nti abo bonna abaali baamala okwewandiisa nga bamaze n'okugoba ku Visa zabwe baakusigala nga balina omukisa okubikozesa omwaka ogujja.

Abo abaagala okwetabamu omwaka ogujja nabo baakuweebwa omukisa okwewandiisa ku ofiisi za Uganda Kwekwaffe mu Kampala.

Ssali ali e Canada mu kiseera kino embeera weyatabukira yali amaze okugenda okusobola okuttaanya enteekateeka z'olukung'aana era gye yasigala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasuie ng’assa omukono ku ndagaano.

Musaayimuto wa SLAU yeesung...

KAPITEENI wa St. Lawrence University (SLAU) mu Pepsi University League, Ibrahim Kasule amanyiddwa nga ‘Owen Baba...

Kyambadde ng’asiba omupiira. Ku ddyo bw’afaanana kati.

Eyali ssita wa KCC ne Crane...

BULI lw’okoona ku linnya lya Ibrahim Sekaggya, Abubaker Tabula, Wilber Musika n’abalala, Willy Kyambadde ayunguka...

Ssenninde

Ssita wa Crested Cranes yee...

OMUZIBIZI wa ‘Crested Crane’ ttiimu y’eggwanga ey’omupiira mu bakazi Jean Namayega Sseninde ayabulidde Queens Park...

Omugenzi Waiswa. Ku ddyo ye Nnaalongo

Poliisi eggalidde Nnaalongo...

SSAALONGO ow’abakyala omunaana, puleesa zimukubye n’afiirawo nga poliisi eggalidde omu ku bakyala be mu kaduukulu....

Abamu ku ba saluuni abaakwatiddwa nga batuusibwa ku poliisi ya CPS.

Poliisi yeezoobye n'abaggud...

POLIISI ekoze ekikwekweto n’ekwata abakazi ababadde basiba n’okukola enviiri, ku kizimbe kya Gazaland ne Equatorial...