TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abalimi b'emmwanyi e Kalungu basekera mu kikonde

Abalimi b'emmwanyi e Kalungu basekera mu kikonde

Added 20th May 2020

ENTEEKATEEKA z'okutongozza omulimo gw'okuzimbira abalimi b'emmwanyi e Bukulula mu Kalungu ekyuma mwe bannasunsulira emmwanyi zaabwe n'okuzongerako omutindo zitandikidde mu ggiya.

Bbanka y'ensi yonna ng'eyita mu minisitule y'ebyobulimi yawadde Kalungu ssente ez'okubazimbira ebyuma bino ebyesigamiziddwa ku mulamwa gw'obweggassi.

Abeggassi ba Balandiza Kimeze Farmers Cooperative Society abakulirwa Charles Kasule be bamu ku baganyuddwa mu nteekateeka eno ng'ekyuma batandise kukibazimbira Buyikuuzi mu Bukulula.

Kibasakidfdwa minisita w'aebyobulimi,obulunzi n'obuvubi era omubaka wa Kalungu East Mu Paalamenti. Vincent Bamulangaki Ssempijja mu kaweefube w'okutumbula obulimi bw'emmwanyi mu Uganda.

Omubaka wa Gavument Caleb Tukaikiriza n'omumyuka we Hajat Sarah Nanyanzi ne Ssentebe wa LCV Richard Kyabaggu bakubirizza abalimi okwefubako nga beeyambisa empereeza ebasemberezeddwa olw'okwegaggawaza.

Bya Ssennabulya Baagalayina

 

 

 

 

 

alt=''

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu