TOP
  • Home
  • Amawulire
  • KCCA etadde obukwakkulizo ku ttakisi ne bodaboda okukola mu Kampala

KCCA etadde obukwakkulizo ku ttakisi ne bodaboda okukola mu Kampala

Added 20th May 2020

KCCA etadde obukwakkulizo ku ttakisi ne bodaboda okukola mu Kampala

 Babbulooka nga bayita takisi.

Babbulooka nga bayita takisi.

KCCA eyongedde okukalubya ebya ttakisi ne bodaboda okuddamu okusaabaza abantu mu Kampala. Balambise ebirina okusooka okuteekebwa mu nkola omuli n'okulambika bodaboda we zinaatambuliranga ku nguudo z'ekibuga.

Pulezidenti Museveni bwe yabadde ayogerako eri eggwanga ku Mmande yagambye nti tayagala kuddamu kulaba kavuyo nga bodaboda zeewagaanya buli wantu n'agamba nti balina okuzikolera layini yaazo ku nguudo za Kampala we zirina okutambulira.

KCCA BY'EYAGALA OKUSOOKA OKUKOLA NGA BODA NE TTAKISI TEBINNADDA

Omwogezi wa KCCA Peter Kaujju yategeezezza Bukedde nti baakola entegeka ku bodaboda ne takisi okuddamu okusaabaza abantu mu kibuga era ebimu ku birina okusooka okukolwako ng'abali mu mulimu ogwo tebannaddamu kukola.

Kaujju yagambye nti mu nteekateeka ya KCCA, takisi zonna ne bbaasi zigenda kusooka kugenda ku minisitule y'ebyentambula zeekeneenyezebwe era ezinaaba zituukirizza ebisaanyizo, zijja kugabirwa siteegi kwe zikolera mu ppaaka. lBuli ttakisi ejja kuweebwa ennamba kwerina okutambulira ng'erambulula amakubo kw'erina okutambulira okwewala ezitaga ku nguudo ez'enjawulo. lTewali mmotoka zigenda kuddamu kusimba ku nguudo.

Emmotoka ezibadde zisimba mu ppaaka enkadde zonna zaasindikiddwa mu ppaaka endala okutuusa ng'omulimu gw'okukola ppaaka guwedde. lOmuwendo gwa takisi eziri mu kibuga zigenda kukendeezebwako ebitundu 30 ku buli 100. Okugeza ppaaka enkadde bw'enaaba ewedde okukola egenda kubeeramu siteegi 25 zokka, ppaaka ye Nakawa yakubeeramu siteegi 19, USAFI siteegi 21, Namayiba ebeere ne siteegi 8 ate Namirembe Road ebeere ne siteegi 41.

EBYA BODABODA KCCA eyagala okusooka okulamba enguudo ng'eraga bodaboda we zirina okutambulira. Kuno bagenda kugattako okulamba siteegi ezikkirizibwako bodaboda era balage n'awo we zitakkirizibwa kusimba. lMu bimu ku bifo we basazeewo okugoba bodaboda kuliko awali amasundiro g'amafuta ne ku bbanka nga bagamba nti ziteeka eby'obutebenkevu bw'ebifo ebyo mu buzibu. lAba bodaboda bonna balina okuwandiikibwa bamanye buli omu w'akolera, balonde obukulembeze, babafunire yunifoomu ezibaawula ku balala mu Munisipaali za Kampala ettaano okuli Lubaga, Makindye, Kampala Central, Kawempe ne Nakawa. lSiteegi za bodaboda mu Kampala yonna zigenda kukendeera, baggyewo siteegi 385.

Siteegi ezibadde 970 zigenda kusigala 585 nga ku zino Kampala Central yaakusigalamu siteegi 34 zokka, Kawempe 89, Makindye 136, Nakawa 147 ate Lubaga 179. lSiteegi za bodaboda ezigenda okusinga okukosebwa ziri mu kibuga wakati nga basazeeko siteegi 30 be ddu okuva ku siteegi 64 ezibaddemu.

Kyokka Rashid Kawaawa, omwogezi w'aba Bodaboda abeegattira mu kibiina kya Uganda Bodaboda Forum yagambye nti eby'okusooka okutereeza enguudo ne siteegi, yaluyise lukwe olubagiddwa KCCA okubagoba mu kibuga.

Yagambye nti enguudo ezaakolebwa nga tekuli "lanes" kwe bavugira ku ntandikwa, tewali ngeri gye basobola kuziteekamu mu kiseera kino. Yagasseeko nti n'enguudo zennyini ezoogerwako nazo nfunda nnyo nga kizibu okusalako ekitundu aba bodaboda kwe bayinza okuvugira.

Yagasseeko nti: Naye naffe tetutudde, tugenda kukozesa amateeka twerwaneko kuba tuwera abantu emitwalo 12 mu kibuga mwokka. Onaagenda okuwulira nga baleese ebibiina byabwe n'abantu baabwe, bakole omulimu gwa boda.

Abakulembeze ba Bodaboda abalala okuli; Yasin Ssemujju owa Bodaboda Industry Ltd ne Ibrahim Ssekajja owa National Federation of Professinal Cycling association ebyokubazimbira we balina okuvugira ku nguudo byabuyise bulimba ebitajja kusoboka mu Kampala.

Mu kwogera kwa Museveni eri eggwanga yagambye nti ebintu byonna bye yakkirizza okuddamu okukola birina kusooka kulinda masiki entongole gavumenti z'egenda okugaba nga ziyitira mu LC I ku buli kyalo eri abantu bonna okuva ku baana abawezezza emyaka 6 n'okweyongera waggulu era nga zino zisuubirwa mu wiiki bbiri. Muno muzingiramu ttakisi, bbaasi n'ebika by'emmotoka ebirala ebitambuza abantu. Zaalagiddwa okutambuza abantu batono.

Okugeza takisi etambuza abantu 14 yalagiddwa okutambuza 7 bokka. William Katumba ssentebe w'abavuzi ba takisi ku lukiiko lwa Inter Taxi Stages Committee yasanyukidde ekya Pulezidenti okulaga nti ayagala baddemu bakole wadde nga batambuza abasaabaze batono.

"Embeera y'abaddereeva mbi nnyo era kyangu okutangira abantu okufa Corona ate ne bakwatibwa ebirwadde ebitawona ebirala kuba n'emmere y'obwereere gye baabasuubiza tebaagifuna ate n'ensimbi ezeerabirira n'okwejjanjaba nga balwadde nazo tebazirina kuba tebakyakola." Katumba bweyagambye.

Ate Atwala baddereeva e Makindye Musa Jaggwe yagambye nti Pulezidenti yabawadde essuubi ly'okuddamu okukola kubanga babadde batidde nnyo engeri KCCA gye yali evuddeyo okubassaako obukwakkulizo era baagala alagire ne KCCA eggyewo obukwakkulizo obwo, baddemu okukola nga June 2, 2020.

Ate ku ba bbulooka ba ttakisi abayita abantu yagambye nti beetegefu okugondera ekiragiro nga bakendeezebwa ssinga bakkirizibwa okuddamu okukola n'agattako nti: Tuli beetegefu okukola mu mpalo bwe kiba nga kye kijja okumalawo omujjuzo gw'abantu ku siteegi kuba n'embuto bangi zaatuggwaako dda.

Yasin Kikomeko ddereeva wa takisi mu Ppaaka Enkadde ku siteegi ye Bwaise eky'okuwera abayita abasaabaze okulinnya takisi ne bbaasi mu ppaaka ne siteegi kyamukubye wala.

Yategeezezza nti abaaweze okuyita emmotoka kye bataategedde nti emmotoka emu mu Sowedi Nkonge: Pulezidenti akimanye nti tuli bubi, ave mu kussaawo obukwakkulizo atekeewo biragiro ebinaasobozesa abantu okusigala nga bakola. Abantu tebalina mmere, tebalina ssente.

Moses Kabanda: Pulezidenti ave mu kuwuliriza baminisita be abagagga abatamanyi mbeera ffe abantu abawansi gye tuyitamu. Tumusaba awulirize omulanga gwaffe, atuleke tukole emirimu gyaffe. Michael Kavuma: Ettaala y'omukono efa mutwe n'obukulembeze bwaffe obw'eggwanga okuviira ddala waggulu okutuusa wansi bwaffa da. Tosobola kugamba nti oli mu kutereeza layini.

Abantu bye bagamba Kampala eyimirizaawo abantu abawera bataano buli lunaku. Yagambye nti badereeva abasinga tebalina mmotoka, era bwe bavugayo ku makya ate essaawa eziddirira bayimirirawo mu kuyita basaabaze ne basobola okubeerawo.

Pulezidenti yalaze nti disitulikiti ezikoona ku nsalo za Uganda n'amawanga amalala tezigenda kukkirizibwamu ntambula ya lukale okumala ennaku endala 21. Disitulikiti zino mulimu; Arua, Moyo, Kitugum, Kotido, Moroto, Kapchorwa, Kyotera, Mbale, Tororo, Rakai, Kisoro, Kasese, Nebbi, Kabale, Ntungamo, Isingiro, Kanungu, Kasese, Bundibugyo n'endala.

Ronald Benon Mugabi ssentebe wa disitulikiti ye Rakai yagambye nti eky'okubagaana entambula y'olukale okumala ennaku 21 baakigumidde kuba bakiraba nti bali ku buzibu bwa maanyi. "Tuli mu bulabe bw'amaanyi kuba abatuuze abamu balina amaka mu Uganda ate ennimiro ziri mu Tanzania.

Ate abalala balina amaka ga njawulo mu nsi zombi ate nga Pulezidenti John Magufuli alabika ye akola bibye." Mugabi bweyagambye

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...

Poliisi ng'eri e Ssembabule okukkakkanya abalonzi ba NRM mu kamyufu gye buvuddeko

Abantu 45 be baafiiridde mu...

ABANTU 45 be bafiiridde mu buzzi bw’emisango obubaddewo wiiki ewedde obulese abalala 33 mu makomera.