TOP

Beeraliikiridde ku kya Gavt. okubunyisa masiki

Added 20th May 2020

Beeraliikiridde ku kya Gavt. okubunyisa masiki

 Abapoliisi nga bagezaako okutangira owabooda aweese omukazi woolubuto n’emigugu.

Abapoliisi nga bagezaako okutangira owabooda aweese omukazi woolubuto n’emigugu.

Emmotoka z'obwannannyini zigenda kukkirizibwa okukola naye nga zitambuza abantu basatu bokka nga ne ddereeva omutwaliddemu, kyokka nga balina okubeera ne masiki entuufu, gavumenti z'egenda okugaba mu wiiki bbiri

Kafeero Ssekitoleko (Nakifuma) era ssentebe w'akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku by'enguudo yagambye nti ekituufu kisobola okukaluubirira Gavumenti okugabira abantu obukadde 30 masiki mu bbanga lya wiiki bbiri era alabawo okutya nga wiiki bbiri ziweddeko ng'abantu tebannaweebwa masiki.

Abantu abavuga emmotoka z'obwannanyini alaba nga balina obusobozi okwegulira masiki ezituukana n'omutindo, n'agamba nti gavumenti ky'erina okukola kwe kulagirira abantu masiki entongole ebabuulire ne we balina okugigula batandike okukozesa emmotoka zaabwe n'okudda ku mirimu.

Loodi Meeya wa Kampala Erias Lukwago yagambye nti Pulezidenti bw'aba asumulula abantu okukola ayanguyeeko kuba embeera abantu mwe bali mbi nnyo.

Ebyokussa "lane" za bodaboda ku nguudo mu kiseera kino yagambye nti tebisoboka kukolebwako okugyako ng'aba bodaboda Pulezidenti tayagala baddemu kukola kubanga bye yayogedde tebisobola tebikolebwa mu lunaku lumu.

Yagambye nti bagenda kutuuza olukiiko baddemu batunuulire embeera eriwo mu Kampala ku bintu Pulezidenti by'ayagala naye ekya "lane" kye basing okulabamu obuzibu kubanga enguudo z'omu Kampala ezimu za ttaka nga tolina bw'oteekako "lane" ya bodaboda.

Kansala Daudi Lwanga owa NRM yagambye nti ebintu bya bodaboda bikyali bizibu era Pulezidenti abayambe azikkirize zitandike okukola naye ebisaanyizo Pulezidenti by'ayagala biri wala n'obusobozi bw'ekibuga nti era n'embeera y'enguudo eriwo ekalubya embeera.

Kauju yategeezezza nti enteekateeka ku takisi ne bodaboda mu kibuga bo baagikola dda ne bagyanjula mu Gavumenti erindiriddwa kuyisibwa lukiiko lwa baminisita eryoke essibwe mu nkola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...