TOP

Abakugu bawabudde ku masomero okuggulawo

Added 20th May 2020

Abakugu bawabudde ku masomero okuggulawo

ABAKULIRA amasomero n'abasomesa bawabudde ku biyinza okugobererwa okwekuuma Corona ssinga abayizi abali mu bibiina nga P7, S4 ne S6 baddamu okusoma mu June nga Pulezidenti bwe yagambye. Buli kintu ku ssomero kirina okukyuka okuva ku mulyango oguyingira mu ssomero okutuuka mu kisulo omuyizi gy'asula.

Hajji Jamir Buwembo akulira Kakungulu Memorial SS Kibuli, agambye nti ekibiina ekibaddemu abayizi 100 babeera balina okubagabanyaamu waakiri mu makkati basobole okuteekawo ebbanga wakati w'abayizi ery'etaagisa. Abayizi bennyini okwewa amabanga.

Buwembo agamba nti kiyinza okukalubamuko okukiteeka mu nkola kubanga si buli muyizi w'agenda nti ajja kulondoolwa omusomesa, wabula kyetaagisa kufuba okubeera nga boogera n'abayizi buli kiseera okubeera nga babajjukiza.

Ismail Bakka akulira ebyensoma mu Mbogo Mixed School e Kawanda annyonnyola nti amazzi ag'okunaaba mu ngalo galina okuteekebwa wakati wa buli bibiina bisatu nga galimu ssabbuuni buli omuyizi lw'agenda okuyingira ng'anaaba mu ngalo.

Bw'otuuka mu kibiina munda buli ntebe y'abayizi empanvu balina okutuulako babiri ate wakati w'entebe emu okutuuka ku ndala bateekewo ebbanga abeebyobulamu lye balagira. Ku bisulo by'abayizi wasaana okubeerawo eppipa y'amazzi agalimu ssabbuuni abayizi babeera nga banaaba engalo buli kiseera.

Abayizi ab'ekisulo entegeka y'ebitanda erina okukyuka, balina okuggyawo ebitanda ebimu beewe amabanga. Kuno bagatteko okuggula amadirisa g'ebisulo gayingize empewo. Bwe kibeera nga kisoboka, omusawo w'essomoero asana okusooka okutendekebwa mu ngeri ey'enjawulo asobola okumanya by'alina okutandikirako bwe wabeerawo okwekengera obulwadde mu bayizi. Kuno essomero waakiri lisaana okugulayo obuuma bubiri obukebera ebbugumu ly'omubiri ne bapima abayizi bonna buli kiseera ekigere.

MINISITULE Y'EBYENJIGIRIZA ETANDISE ENTEEKATEEKA

Pulezidenti Museveni bwe yabadde ayogera eri eggwanga ku Mmande yategeezezza nti gavumenti yaakukkiriza amasomero okuggulawo gasomese abayizi abali mu bibiina ebirina okukola ebigezo ebyakamalirizo omwaka guno wabula yagagaanye okuwa abayizi ebigezo by'akamalirizo ebya ttaamu esooka.

Yalagidde minisitule y'ebyenjigiriza okulambika enkola enaagobererwa nga baggulawo amasomero abayizi bano basome kyokka abayizi abalala yalagidde bagira balindako. Abo beyakkirizza okuddamu okusoma balina okulindako wiiki bbiri ne ziggwaako gavumenti esooke ewe abantu bonna masiki n'abayizi ze balina okwambala nga badda ku masomero.

Omuwandiisi ow'enkalakkalira mu minisitule y'ebyenjigiriza, Alex Kakooza yategeezezza Bukedde nti minisitule eri mu nteekateeaka okulaba ng'efulumya enkola amasomero gye ganaagoberera era baakubitegeeza eggwanga mu bwangu.

UNEB ERAMBULUDDE EKIDDAKO

Omwogezi wa UNEB Jenifer Kalule Musamba yategeezezza Bukedde nti bo bakolera ku nteekateeka ya minisitule y'ebyenjigiriza, kasita eggulawo olwo ne UNEB ebeera erina okutandikirawo okuwandiisa abayizi abalina okutuula ebigezo.

Gavumenti weyaggalira amasomero baali batandiseeko wabula kati bwe baggulawo abazadde babeera balina okukwatagana n'amasomero okutereeza ebikwata ku bayizi ng'empandiika y'amannya entuufu, emyaka gyabwe n'okuteekako obufaananyi bwabwe.

Kalule agamba nti buli ssomero eririna nnamba kwe batuulira ebigezo, basobola bulungi okuwandiisa abayizi nga bayita ku mikutu gya yintanenti gye baabawa.

YUNIVASITE ZISANYUKIDDE EKY'OKUGGULAWO AKULIRA IUIU,

Dr.Ahmad Kaweesa Ssengendo yasiimye Pulezidenti olw'okukkiriza abayizi abali mu mwaka gwabwe ogusembayo okuddamu okusoma kyokka n'asaba wabeewo engeri amatendekero gano gye gayambibwako okubbulukuka mu kusoomoozebwa kwe galimu okw'ebyenfuna ebiserebye ennyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Agugulana ne KCCA atiisizza...

HAJJI Rashid Ssenyonjo Musisi atiisizza okukung'anya famire ye batuule mu luguudo ompi n'amayumba ge e Lweza...

Trump anywezezza ebyokwerin...

Abaserikale abamukuuma beebulungudde White House okuva mu ggye erimanyiddwa nga The Washington, DC National Guard,...

 Mwamula Juma, the UPTU General Secretary speaking the press in Kampala. Looking on is a member of UPTU. Courtesy photo

Uganda Private Teachers Uni...

Mwamula Juma, the UPTU General Secretary said the government directive is more of a populist voice than a realistic...

 Kayiwa

Munnamakolera asabye Gav't ...

MUNNAMAKKOLERO Steven Kayiwa nga y'akiikirira Bannamakkolero mu lukiiko lwa Buganda olukulu asabye gavumenti eyawakati...

Bagabidde abakozi b'Abachin...

MINISITULE y'ebyobulamu egabidde abakozi mu b'omu nnimiro z'abachina abalimira omuceere mu Lwera n'abavubi b'oku...