TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abantu batankanye enteekateeka ya Nytil ku kugaba masiki

Abantu batankanye enteekateeka ya Nytil ku kugaba masiki

Added 20th May 2020

Abantu batankanye enteekateeka ya Nytil ku kugaba masiki

KKAMPUNI ya Nytil eyaweereddwa omulimu gw'okukola masiki Gavumenti z'egenda okugabira abantu eraze bw'egenda okugukola abantu ne bakubagana empawa.

Ebintu byonna Pulezidenti Museveni bye yasumuludde mu kalantiini ku Mmande ekiro, okuli abayizi abali mu bibiina eby'akamalirizo, mmotoka za buyonjo, ab'amaduuka n'entambula y'olukale, yabijulizza masiki ezikolebwa aba Nytil ezisuubirwa mu wiiki bbiri.

Omwogezi wa kkampuni eno, Richard Mubiru, mu bbaluwa gye yasindikidde emikutu gy'amawulire yategeezezza nti, bagenda kukolera wamu ne Bannayuganda n'ebitongole ebirumirirwa abantu okukola masiki zino.

Mubiru yabadde atangaaza ggwanga ku kibaluwa ekyabadde kitambuzibwa ku mikutu gya yintaneeti nga kigamba nti, ekyuma ekikola masiki kyabadde kifudde era kyabadde kyetaaga omukugu okuva e Germany okukikanika.

Yagambye nti, baatandika dda okukola masiki era omulimu gutambula kinnawadda n'agamba nti, ensonga z'ekibaluwa kino, baabadde bazikwasizza poliisi. Uganda yeetaaga masiki waakiri obukadde 30 nga zino Nytil okuzikola, yeetaaga emyezi egitakka wansi w'esatu wabula Mubiru yagambye nti, bagenda kukwatagana ne kkampuni endala ezikola masiki okulaba bwe basobola okutambuza omulimu guno.

BAKUBAGANYE EMPAWA KU MASIKI Dr. Kizza Besigye ye yasoose okuteeka obubaka ku mukutu gwe ogwa Twitter n'ategeeza nti, okukozesa masiki kirungi kyokka okuwaliriza abantu okukozesa masiki ezibaweereddwa Gavumenti, kimenya mateeka.

Yagasseeko nti, bannassaayansi mu Uganda bandibadde bavaayo ne balaga ekika kya masiki eziteekeddwa okukolebwa n'omutindo gwazo buli kkampuni esobola okuzikola, ezikole okusinga omulimu okuguwa kkampuni emu.

Ate omubaka wa Busiro East, Medard Lubega Sseggona yagambye nti, Pulezidenti yazze n'ekigendererwa kya kwongezaayo kalantiini wiiki endala bbiri kubanga abantu abalina mmotoka za buyonjo, bandisobodde okwegulira masiki.

"Abantu abasobola okwegulira masiki bangi, okusinga okugamba nti, balinde eza gavumenti, bandibadde bakkiriza abantu bano ne beegulira masiki ez'omulembe nga ziri ku mutindo Gavumenti gwe yeetaaga ne badda ku mirimu gyabwe." Salim Uhuru ssentebe wa NRM mu Kampala Central bwe yategeezezza.

Muyanja Ssenyonga, akiikirira Mukono South, yagambye nti, abantu abaaweereddwa omulimu gw'okukola masiki, bandibadde bagukola mu bwangu ne batandika okuzigaba ng'olwa June 2, terunnatuuka.

Godfrey Nyakana, ssentebe wa NRM mu Kampala yagambye nti, kkampuni ezirina obusobozi okukola masiki, zandibadde zikwatira wamu ne Nytil ne zitandika okufulumya masiki omulimu ne guggwa mangu.

Joel Ssennyonyi, omwogezi wa People Power yagambye nti, abakugu mu byobulamu omuli ne Minisita Jane Ruth Aceng baategeeza nti, abantu engeri gye batalina ssente zigula masiki za bbeeyi, basobola okugira nga bayiiya ze basobola okukozesa babikke emimwa n'ennyindo wabula kandiba nga kaali kakodyo kulumya bantu n'agamba nti, bo aba People Power, baali baasalawo okuyiiya ezaabwe era babadde bazigabira abantu ku bwereere naye Gavumenti erabika yayagadde kubalemesa.

Yayongeddeko nti, ebintu bya Gavumenti bikolebwa kasoobo era ennaku 14 ezaayongezeddwaayo zijja kuggwaako nga masiki tezikoleddwa, oba ng'okuzigaba kwa nkalu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Agugulana ne KCCA atiisizza...

HAJJI Rashid Ssenyonjo Musisi atiisizza okukung'anya famire ye batuule mu luguudo ompi n'amayumba ge e Lweza...

Trump anywezezza ebyokwerin...

Abaserikale abamukuuma beebulungudde White House okuva mu ggye erimanyiddwa nga The Washington, DC National Guard,...

 Mwamula Juma, the UPTU General Secretary speaking the press in Kampala. Looking on is a member of UPTU. Courtesy photo

Uganda Private Teachers Uni...

Mwamula Juma, the UPTU General Secretary said the government directive is more of a populist voice than a realistic...

 Kayiwa

Munnamakolera asabye Gav't ...

MUNNAMAKKOLERO Steven Kayiwa nga y'akiikirira Bannamakkolero mu lukiiko lwa Buganda olukulu asabye gavumenti eyawakati...

Bagabidde abakozi b'Abachin...

MINISITULE y'ebyobulamu egabidde abakozi mu b'omu nnimiro z'abachina abalimira omuceere mu Lwera n'abavubi b'oku...