TOP

Kenzo awangudde engule endala

Added 20th May 2020

Kenzo awangudde engule endala

EDDY Kenzo amenye likodi endala. Abadde akyalaajanira gavumenti emukkirize okudda kuno okuva mu Ivory Coast kalantini gye yamusanga, omuyimbi Eddy Kenzo afunye ku ssanyu bw'asiimiddwa ab'omukutu gwa Youtube ng'omuyimbi Munnayuganda asinza abagoberezi abangi ku mukutu guno.

Eddy Kenzo ayongedde okulaga amaanyi mu nsiike y'okuyimba bw'awezezza abagoberezi abasukka mu kakadde akamu ku mukutu gwa Youtube ekyavuddeko ab'omukutu guno okumuwa engule ya zzaabu eweebwa abawezezza omuwendo guno. Yeegasse ku Diamond Platnumz, Rayvanny ne Harmonize abaaguweza edda.

Kenzo azze akola ebyafaayo ku mukutu guno okuli oluyimba lwe olwa Sitya Loss okuba oluyimba lwa Munnayuganda olukyasinze okulabibwa abantu abangi. Emabegako baafulumya ensengeka y'ennyimba za Bannayuganda 10 ezikyasinze okulabibwa ku mukutu guno nga Kenzo alinako 9 ne Jose Chameleone lumu.

Omukutu gwa Youtube gusasula okusinziira ku bintu by'oteekako n'abagoberezi b'olinako ekitegeeza nti Kenzo mu kiseera kino y'omu ku basinga okufuna ssente ku mukutu guno

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

'Ssegirinnya nze ani okufuu...

“BULIJJO mbadde mpita ku Palamenti obusajja (ng’ategeeza abaserikale) ne buntwala entyagi nga bugamba ndi wakyamu!...

Batabani ne bawala bange ky...

BATABANI ne bawala bange mukulikeeyo mu kalulu. Emirundi egisinga bwe wabaawo okulonda amaka gatera okufuna enjawukana...

Joel Ssennyonyi ne Nsereko nga bajaganya.

Abakugu balaze ebyasudde NR...

ABA NRM bakyatakula mitwe ku byavudde mu kalulu mu Buganda ne Busoga. Guno gwe gwabadde omulundi ogusooka, Pulezidenti...

Ekibanda ekyasaanyeewo. Ku kkono ye Nakawuka omu ku baafiiriddwa ebintu.

Omuliro gusaanyizzaawo ebba...

Bya PONSIANO NSIMBI ABATUUZE bawaliriziddwa okutema ppayipu y'amazzi eya National Water okuzikiriza omuliro...

Ssekajja.

'Gavt. esembeze ab'oludda o...

ABAKYALA okuva mu mawanga ag'enjawulo ku lukalu lwa Afrika abaalondodde okulonda akalulu k'obwapulezidenti basabye...