TOP

Ebyabadde mu kafubo ka Bobi ne Besigye

Added 22nd May 2020

Ebyabadde mu kafubo ka Bobi ne Besigye

 Bobi ne mukyala we Babie (ku ddyo) ku bugenyi ewa Besigye.

Bobi ne mukyala we Babie (ku ddyo) ku bugenyi ewa Besigye.

ENSISINKANO ya Bobi Wine ne Besigye mu kiseera kya kalantiini ewadde ab'oludda oluvuganya gavumenti essuubi ly'okwegatta nga boolekera akalulu ka 2021 akakyaliko ebibuuzo.

Ensonda zaategeezezza nti enteekateeka y'okusisinkana yali yalukibwa dda nga kalantiini tannatandika era mu nteekateeka eyasooka, Besigye ye yalina okusituka agende e Magere ewa Bobi Wine; kyokka ekiseera kya kalantiini kyakyusizza ebintu era ne bakkaanya Bobi Wine y'aba agenda e Kasangati ewa Dr. Kizza Besigye.

Bobi Wine mu kiseera kino alina olukusa okutambula ng'omubaka wa Palamenti owa Kyaddondo East kyokka ate Besigye talina ngeri gy'atambula kubanga sitiika gye yalina okuweebwa ng'eyisibwa mu mukago ogugatta ebibiina by'ebyobufuzi (IPOD) baagisimbira ekkuuli mu kugabana sitiika ezo, ng'abeebibiina ebirala babuuza aba FDC ekiti mwe baweera Besigye sitiika ng'ate talina kifo kya maanyi mu kibiina.

Robert Kyagulanyi (Bobi Wine), bwe yasimbudde ewuwe e Magere ku Lwokusatu, yasoose wa Besigye nga tannagenda mu Palamenti gye yayogeredde ku makampuni agakola "masiki" ng'ayagala n'ezikolebwa amakampuni amatono zikkirizibwe ku katale kasita ziba nga zituukana n'omutindo.

Ewa Besigye yatuuseeyo ku ssaawa nga 4:00 ez'oku makya era Besigye n'asalawo batuule ebweru awali akafo mw'asisinkanira abagenyi. Bobi baamugabudde caayi ow'amata, obumpwakimpwaki n'amenvu era baateesezza nga bwe bombi bwe banywa caayi n'amenvu.

EBYABADDE MU KAFUBO KA BESIGYE NE BOBI Ensonda zaategeezezza nti Bobi yasoose kuyozaayoza Besigye okuweza emyaka 64 gye yakuza ku kabaga akaaliwo ku nkomerero y'omwezi oguwedde.

Besigye nti naye yatenderezza Bobi olw'okuyiiya ennyimba ennungi ezikoze ennyo okubunyisa obubaka bw'okulwanyisa obulwadde bwa COVID-19 (obuleetebwa akawuka ka Coronavirus) mu Uganda, Afrika n'ensi yonna.

Oluvannyuma baatandise okuteesa era kigambibwa nti akafubo kaabwe keetoolodde nnyo ku mbeera eriwo ne ky'etegeeeza mu byobufuzi bya Uganda. Baakubaganyizza ebirowoozo ku ngeri gavumenti gy'ekuttemu kaweefube w'okulwanyisa Corona n'ebiragiro Pulezidenti by'abadde awa n'engeri abeebyokwerinda abamu gye bakozesezza ebiragiro ebyo okutulugunya abantu.

Ensonda zaategeezezza nti baateesezza ne ku ky'akalulu ka 2021 nti era Besigye n'alaga okutya nti akalulu kayinza okwongezebwayo nga gavumenti ne Palamenti bawadde ensonga y'embeera ya Corona, kyokka nti n'agamba nti yakitegeddeko bwe banaaba basazeewo akalulu kabeereyo, bagenda kussaawo obukwakkulizo bungi omuli n'okugaana enkuhhaana ezinoonya akalulu; kampeyini bazikubire ku ttivvi ne leediyo.

"Bombi bakkaanyizza okusimbira ekkuuli enteekateeka essaawo akalulu akaliko obukwakkulizo obungi, kubanga kagenda kuba kayamba omuntu omu yekka ali mu buyinza." Omu ku bayambi eyabaddewo ng'olukiiko lugenda mu maaso bwe yategeezezza Bukedde eggulo ku byabadde mu lukiiko lwa Bobi ne Besigye.

Kigambibwa nti baatuuse n'okugamba nti okukkiriza akalulu akataliimu kukuba kampeyini mu bantu ng'ensonga eweereddwa ya Corona, waakiri bakongezaayo ne bakategeka mu kiseera mwe basobolera okukubira kampeyini obulungi.

Baasazeewo okubeera n'ensisinkano endala okwongera okuttaanya bwe bayinza okukolera awamu mu kulwanyisa ebintu bye bagamba ebinyigiriza ab'oludda oluvuganya gavumenti.

Baasazeewo n'okukolagana ennyo mu kulwanirira abantu b'enjuyi zonna okuli olwa People Power eya Bobi ne FDC omuva Besigye abakwatibwa ku misango egirowoozebwa nti gya byabufuzi. Kigambibwa nti ng'olukiiko terunnaggwa, Besigye yalabudde Bobi Wine okusunsula ennyo b'akola nabo n'amugamba nti abantu abamu emisana baba ba People Power, ate bwe buziba ne bafuuka ba "kyenvu". Ensisinkano eno yajjidde mu kiseera nga basajja ba Bobi Wine abakulemberwa Ashberg Kato baakamala okulangirira nga bwe baasaze eddiiro ne beegata ku NRM.

Mu May 2019, Besigye yeesitula n'agenda e Magere okukyalira Bobi Wine era ne bateesa ku nsonga eziwera, ate mu wiiki eyaddako ne bafuna olukiiko olulala olwatuula mu maka ga Loodi Meeya Erias Lukwago e Lubaga. Ekiseera ekyo, Bobi yali yaakayimbulwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...