TOP

DP si mmativu na Gavumenti ku bya corona

Added 22nd May 2020

DP si mmativu na Gavumenti ku bya corona

 Ssegona (ku kkono) ne Kakande.

Ssegona (ku kkono) ne Kakande.

EKIBIINA kya DP si kimativu ku ngeri Gavumenti gy'ekuttemu enkola y'okulwanyisa ssennyiga omukambwe ‘Corona', ne bagamba nti abantu enjala ebali bubi, nga Pulezidenti Museveni asaana aggyewo omuggalo.

Baawadde ensonga 10 ze baagala Gavumenti ekoleko okutaasa embeera embi eriwo n'okuzza eggwanga engulu mu byenfuna.

Baagala Gavumenti eronde olukiiko olw'awamu olugenda okutunuulira abasinze okukosebwa ennyo, ate erage n'ensasaanya y'ensimbi zonna ezigiweereddwa. Gavumenti eteekwa okubonereza abaserikale abatulugunyizza abantu naddala aba LDU, ate babaggyeko emmundu zikwasibwe poliisi.

Bbanka Enkulu ekendeeze ku magoba ku bbanka z'obusuubuzi kubanga abantu bali bubi nnyo, ne Gavumenti eteekewo omutemwa ogw'enjawulo okubbulula abasuubuzi.

Amagoba mu bbanka enkulu ne mu bittavu bya Gavumenti balindeko okugagabana. Mu lukiiko lwa bannamawulire olwakubiriziddwa omuwandiisi wa DP omulonde, Medard Ssegona e Kamwokya, baagambye nti Gavumenti teyambye bantu ku mmere ate ng'erina ssente.

Baasabye ebibiina by'obufuzi byonna bissibwe ku lukiiko olukola ku nteekateeka zino bazze eggwanga engulu nti tewali nsonga lwaki Gavumenti ekyasibidde abantu awaka. Abalala ababaddewo ye; Kenneth Kakande, omwogezi ne ssentebe wa Wakiso, Matia Lwanga Bwanika

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...