TOP

Owa S6 bamugaanyi omulenzi we ne yetta

Added 22nd May 2020

Owa S6 bamugaanyi omulenzi we ne yetta

OMUYIZI wa S6 yesse lwa bazadde be kumunenya ku mulenzi gw'abadde apepeya naye mu luwummula lwa Corona.

Sumayiyah Nabukenya 18, omuyizi wa S.6 mu ssomero lya Light College Mpigi avudde mu mbeera ne yetta ng'akozesa akakaaya ke lwa bazadde kumugaana omulenzi gw'abadde ayagala.

Nabukenya asangiddwa nga yeetugidde mu nnimiro okumpi n'ewa kitaawe ku kyalo kye Bukandagana A mu ggombolola y'e Kalamba mu Butambala era nga yakozesezza kakaaya ke yabadde yeesibye ku mutwe ne yeetugira mu kasaka okumpi n'ennimiro w'abadde alima.

Kigambibwa nti Nabukenya okwetuga entabwe yavudde ku bazadde be okumukomako ku mulenzi gw'abadde apepeya naye asobole okumaliriza emisomo gye olwo n'afuna okutya. Abamu ku batuuze baategeezezza nti Nabukenya abadde mugezi nnyo mu ssomero era nga y'omu ku bayizi abasinga bannaabwe era nga bazadde be bamulinamu essuubi nga kiteeberezebwa okuba nga yandiba nga yabadde afunye olubuto ekyamutiisizza ne yetta.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Full Figure ne Balaam e Mbarara.

Full Figure atabaganye n'ab...

OMUYIMBI Jenniffer Fullfigure nga kati akola nga omuwabuzi wa pulezidenti Museveni asisinkanye abayimbi n'abavubuka...

Biden avuganya ne Trump.

Abalonzi obukadde 4 mu Amer...

OKULONDA kwa Amerika kuli mu katyabaga bannassaayansi bwe bagudde mu lukwe lw'amawanga bwe batalima kambugu nga...

Pulezidenti Museveni.

Twagala buwanguzi bwa Musev...

Omumyuka wa ssentebe wa NRM mu Buganda, Godfrey Kiwanda Ssuubi atongozza akakiiko akagenda okunoonyeza Pulezidenti...

Mukasa (ku kkono) nga y'akamala okwewandiisa.

Abeewagudde ne batabula eki...

ABATAAYITAMU mu kamyufu ka NRM n’abaalemwa okuyita mu kusunsula kwa NUP batabudde ekibalo mu kalulu k’ababaka ba...

Latif Ssebaggala nga yeewandiisa e Ntinda.

Latif Ssebaggala olumaze ok...

OMUBAKA Latif Ssebaggala olumaze okwewandiisa okuddamu okuvuganya ku kifo ky'omubaka wa Kawempe North n'awera....