TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa Mukono ng'alina Coronavirus

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa Mukono ng'alina Coronavirus

Added 24th May 2020

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa Mukono ng’alina Corona virus-atwaliddwa mu kalantiini n’abalala babiri be yabadde nabo mu mmotoka.

 Ddereeva Kato mu ambyulensi eyamututte mu ddwaliro e Mulago.

Ddereeva Kato mu ambyulensi eyamututte mu ddwaliro e Mulago.

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa Mukono ng'alina Corona virus-atwaliddwa mu kalantiini n'abalala babiri be yabadde nabo mu mmotoka.

Minisitule y'eby'obulamu eriko ddereeva w'ekimotoka ekinene gw'ezze erondoola oluvannyuma lw'okukeberebwa e Mutukula n'agenda kyokka ebyavudde mu kumukebera ne bizuulibwa ng'alina ekirwadde kya COVID 19.

Ddereeva ono ategeerekese nga James Kato ng'aliko eby'amaguzi bye yali asaabaza n'akeberebwa ku nsalo y'e Mutukula ng'eby'avudde mu kumukebera byagenze okukomawo n'asangibwa ng'alina ekirwadde kya COVID 19.

 dereeva ato ku kkono ngayingira mu ambyulensi okumutwala mu ddwaliro e ulago Ddereeva Kato ku kkono ng'ayingira mu ambyulensi okumutwala mu ddwaliro e Mulago



Kato yasangiddwa ng'aliko ebintu bye yabadde atutte mu Industrial Area e Mukono kyokka ng'aggyiddwayo n'abalala babiri okuli ne Charles Obonyo be
yasangiddwa nabo mu mmotoka.

Bano baasoose kuteekebwa mu bimuli bya meeya e Mukono ng'abasawo e Mukono
bwe balinda abakola ku bya COVID 19 okuva mu ddwaliro e Mulago.

Bano bazze ne ambyulensi mwe baatadde ddereeva n'endala ne bateekamu be
yabadde nabo ne batwalibwa mu ddwaliro e Mulago.

 musawo ngakuuma abasajja okuli ddereeva wekimotoka ato eyasangiddwa ngalina  19 nabalala ababiri be yabadde nabo Omusawo ng'akuuma abasajja okuli ddereeva w'ekimotoka Kato eyasangiddwa ng'alina COVID 19 n'abalala ababiri be yabadde nabo.


Kigambibwa nti olw'okuba ambyulensi ezisinga zaatwaliddwa ku nsalo ewali abavuzi b'ebimotoka ebinene abasangibwa ennyo n'ekirwadde mu kiseera kino sso ng'ate ne Mukono ng'eddwaliro ne disitulikiti tebalina ambyulensi, ambyulensi emu ye yakozeseddwa okusomba abasajja bano ng'obwedda etwala omu n'ekomawo n'enona omulala ng'eno yavudde mu ddwaliro e Mulago n'abasawo
abakugu ku bya Corona virus.

Dr. Anthony Kkonde akulira eby'obulamu mu munisipaali y'e Mukono yagambye nti bazze balondoola ddereeva ono oluvannyuma lw'ebyavudde mu kumukebera
okusangibwa ng'alina COVID 19.

 musawo ngakuuma abasajja okuli ddereeva wekimotoka ato eyasangiddwa ngalina  19 nabalala ababiri be yabadde nabo Omusawo ng'akuuma abasajja okuli ddereeva w'ekimotoka Kato eyasangiddwa ng'alina COVID 19 n'abalala ababiri be yabadde nabo.

 
Dr. Kkonde yagambye nti baliko n'abatikkuzi 7 abaatikkudde ebintu ddereeva ono bye yaleetedde mu mmotoka nga bano nabo banoonyezebwa basobole okukeberebwa n'okuteekebwa mu kalantiini.

Yagambye nti ku ddwaliro lya Mukono General Hospital balina Hub nga muno mulimu abasawo 10 abaatendekeddwa obulungi okujja ssampo ku bateeberezebwa okubeera ne COVID 19.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omugagga Ham eyakulembeddemu bannanyini bizimbe mu lukiiko ne Amelia Kyambadde

Bannanyini bizimbe balemedd...

AKAKIIKO kebassaawo okubaga ebinaagobererwa kisobozese okuggulawo akeedi z’omu Kampala kamalirizza lipooti eno...

Jackson Musisi kitunzi w'essaza lya Gomba ku kkono ng'akwasa Mansoor Kamoga obuvunaanyizibwa bw'essaza

Aba ttiimu y'essaza lya Gom...

OLUVANNYUMA lw’ Essaza lya Gomba okusaasaanya ssente empitirivu mu kugula abazannyi, abakungu baalyo bafunyemu...

Omutendesi Bamweyana ng'assa ku ndagaano omukono

Omutendesi Bamweyana olwega...

OMUTENDESI omuggya owa Wakiso Giants FC mu Star times Uganda Premier League, Douglas Bamweyana asuubizza omupiira...

Bryan White kati asizza ku ku byuma

Bryan White mulwadde muyi: ...

Bryan White mu kiseera kino asizza ku byuma amaze wiiki biri mu ddwaaliro ly'e Nakasero kyokka embeera ye ekyagaanye...

Kato Lubwama nga tebannamulongoosa

Omubaka Kato Lubwama bamulo...

OMUBAKA Kato Lubwama ( Lubaga South) amaze essaawa ssatu mu sweeta ng'abasawo bamulongoosa n'okumwekebegya omulundi...