TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Famire eziyiridde mu nnyumba nga bafumba emmere ya Iddi: Babiri bafudde

Famire eziyiridde mu nnyumba nga bafumba emmere ya Iddi: Babiri bafudde

Added 24th May 2020

Abasiraamu mu kibuga ky’e Mukono baaguddemu encukwe ku Iddi munnaabwe eyabadde akedde ku maliiri okufumba emmere ye n’abaana bataano bwe baaziyiridde mu nnyumba okukkakkana ng’abaana babiri bafudde.

Nalumansi omu ku baana ng'ali mu ddwaliro gye baaweereddwa obujjanjabi.

Nalumansi omu ku baana ng'ali mu ddwaliro gye baaweereddwa obujjanjabi.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu ttundutundu lya Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti ekikangabwa kino kyagudde ku kyalo Wantoni mu divizoni ya Mukono Central mu maka ga Emma Azizi.

Owoyesigyire yagambye nti Halima Nakato (27) ye yakedde ku ssaawa nga 10:00 ku maliiri okufumba emmere ya Iddi kyokka bwe yeggalidde mu nnyumba ng'afumbira ku ssigiri n'aziyira n'abaana 5 bwe baabadde mu nnyumba.

Yategeezezza nti Nakato n'abaana abataano baddusiddwa mu ddwaliro lya Mukono General Hospital nga biwala ttaka kyokka we baatuukiddeyo ng'abaana okuli Latif Malagala (4) ne Rahman Mutagaya (2) nga bafudde.

  akato maama wabaana mu ddwaliro ngamaze okudda engulu owokubiri ku kkono ye ulerwa nga naye afuna obujjanjabi Nakato, maama w'abaana mu ddwaliro ng'amaze okudda engulu, ow'okubiri ku kkono ye Mulerwa nga naye afuna obujjanjabi.

Bbo abaana abalala okuli; Percy Mulerwa (11), Catherine Nalumansi (12) ne Margaret Ndibasa (6) baaweereddwa obujjanjabi nga baagenze badda mpola engulu.

Okusinziira ku kunoonyereza kwa poliisi, Owoyesigyire yagambye nti ekikangabwa kino kyavudde ku kiziyiro ekyazzeewo olw'okufumbira mu nnyumba ku ssigiri omukka ogw'obulamu ne guggwamu ekyavuddemu kwe kuziyira.

Azizi nga ye bba wa Nakato eyasuze mu maka amalala yategeezezza nti baabadde baakusisinkana naye mu katale gye batundira enkoko ku makya ennyo kyokka bwe yatuseeyo n'amulinda nga tamulaba ku ssaawa ng'emu olwo kwe kugenda ewaka alabe kiki ekyabadde kibaddewo.

 badduukirize nga basabira ku akato maama wabaana abaafudde nga yaakadda engulu mu ddwaliro Abadduukirize nga basabira ku Nakato maama w'abaana abaafudde nga yaakadda engulu mu ddwaliro.

"Bwe natuuse ne mpita nga teri kanyego naye nga mpulirayo okuyaziirana munda mu nnyumba kwe kugenda ku ddirisa gye nasanze nga siriggale bwe nagguddewo nga munda mwonna mujjudde omukka.

Nayise balirwana ne tumenya oluggi okutuuka ku baabadde munda nga bbo abalimu tebakyamanyi biri kunsi kwe kusala amagezi okubaddusa mu ddwaliro.

Ssentebe w'ekyalo, Ssalongo Moses Nyombi yagambye nti baayise poliisi oluvannyuma lw'okuyoolayoola abantu bano ne babatwala mu ddwaliro.

 ulerwa omu ku baana ngali ddwaliro Mulerwa omu ku baana ng'ali ddwaliro.

Nyombi yalabudde abantu naddala abapangisa okwewala okufumbira mu nnyumba n'agamba nti abantu bangi abazze bafa mu ngeri eno ey'okuziyirira mu nnyumba nga kiva mu kufumbira ku ssigiri.

Nakato oluvannyuma lw'okudda engulu, yagambye nti yabadde waakufumbira wabweru kyokka yabadde anaatera okuggulawo n'awulira omusajja ng'atambula olwo kwe kutya ng'agamba nti bandiba abatemu.

"Nayagadde nkeere nfumbe olwo ndyoke ngende okutunda enkoko ezaabadde zisigaddewo ku makya ennyo naye ne kitasobola," Nakato bwe yannyonnyodde.

 akato maama wabaana mu ddwaliro ngamaze okudda engulu  bif enry subuga   Nakato, maama w'abaana mu ddwaliro ng'amaze okudda engulu. (Ebif. Henry Nsubuga)

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omugagga Ham eyakulembeddemu bannanyini bizimbe mu lukiiko ne Amelia Kyambadde

Bannanyini bizimbe balemedd...

AKAKIIKO kebassaawo okubaga ebinaagobererwa kisobozese okuggulawo akeedi z’omu Kampala kamalirizza lipooti eno...

Jackson Musisi kitunzi w'essaza lya Gomba ku kkono ng'akwasa Mansoor Kamoga obuvunaanyizibwa bw'essaza

Aba ttiimu y'essaza lya Gom...

OLUVANNYUMA lw’ Essaza lya Gomba okusaasaanya ssente empitirivu mu kugula abazannyi, abakungu baalyo bafunyemu...

Omutendesi Bamweyana ng'assa ku ndagaano omukono

Omutendesi Bamweyana olwega...

OMUTENDESI omuggya owa Wakiso Giants FC mu Star times Uganda Premier League, Douglas Bamweyana asuubizza omupiira...

Bryan White kati asizza ku ku byuma

Bryan White mulwadde muyi: ...

Bryan White mu kiseera kino asizza ku byuma amaze wiiki biri mu ddwaaliro ly'e Nakasero kyokka embeera ye ekyagaanye...

Kato Lubwama nga tebannamulongoosa

Omubaka Kato Lubwama bamulo...

OMUBAKA Kato Lubwama ( Lubaga South) amaze essaawa ssatu mu sweeta ng'abasawo bamulongoosa n'okumwekebegya omulundi...