TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Salva Kiir yalaze obubonero bwa Corona Virus eggwanga ne lisattira

Salva Kiir yalaze obubonero bwa Corona Virus eggwanga ne lisattira

Added 25th May 2020

Salva Kiir yalaze obubonero bwa Corona Virus eggwanga ne lisattira

ENSONDA mu ggwanga lya South Sudan zitegeezezza nti Pulezidenti Salvar Kiir baamututte misinde mu Cairo Hospital e Misiri afune obujjanjabi oluvannyuma lw'okufuna obubonero obutiisa nga bulaga nti akwatiddwa corona.

Bino byabaddewo ku nkomerero ya wiiki wabula omusawo we yategeezezza nti Pulezidenti Kiir ali mu mbeera nnungi newankubadde baakizudde ng'alina Corona.

Kiir yagenze okulangirira nti mulwadde nga waakayita ennaku ntono ng'omumyuka we, Dr. Riek Machar amaze okukakasa nti alwatiddwa obulwadde ne mukyala we ssaako minisita w'ebyokwerinda, Angelina Teny wamu n'abakozi abalala mu ofiisi ye. We bwatuukidde eggulo nga South Sudan yaakalangirira abantu 655 abakwatiddwa obulwadde bwa corona era 8 bafudde.

TRUMP ALAGIDDE BAGAVANA OKUGGULAWO AMASINZIZO

Ate Pulezidenti Donald Trump yalagidde Bagavana bonna mu Masaza ga Amerika okuggulawo amasinzizo ku Ssande ng'agamba nti yagenze okwetegereza nga gali mu kiti ky'ebitongole ebyetaagisa ennyo mu kiseera kino.

Yategeezezza nti anaajeemera ekiragiro waakumulaba akamufaamu. Wabula Ssemateeka wa Amerika owa Federo awa Baggavana obuyinza okusalawo kye balaba nga kye kisinga okugasa obulamu bw'abantu.

Abakugu mu kutaputa ebyobufuzi bagamba nti ekiragiro Trump yakikoze kubanga akimanyi nti aba White Evangelical Christians bawagizi be nnyo ekitegeeza nti bw'abakkiriza okuggulawo kimwongera obuwagizi nga yeetegekera okuddamu okuvuganya ku kisanja ekyokubiri ku Bwapulezidenti.

Ebyo nga bikyali awo, ye Pulezidenti Kim Jong Un owa North Korea yatuuzizza olukiiko lwa Bannamagye olw'oku ntikko okusala amagezi ku ngeri gye balina okwongera amaanyi mu nteekateeka z'okuweesa nukiriya.

Luno lwe lukiiko olwasoose oluvannyuma lw'akabanga nga talabikako mu lujjudde abamu ne batuuka n'okumubika. Yagenze okuluggalawo ng'alangiridde nti akuzizza bagenero 70 mu ggye lya Korean People's Army.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...