TOP

Omusajja anzigyako abaana

Added 25th May 2020

Omusajja anzigyako abaana

BW'OBA tonnaloza ku zziga lya bufumbo, buli lukya fukamira weebaze Mukama Katonda wo ate oyongere okumusaba agire ng'akyakulese mu mbeera gy'olimu. Obufumbo si mmere wadde ng'ate n'ababwesunga okubuyingira be bangi.

Nange bwe nali sinnabuyingira saalowooza nti nyinza okwejjusa lwaki nafumbirwa naye Mukama Katonda yeebale kasita nsobodde okufuna ku zzadde ate abamu ababulimu lye banoonya. Nze Prossy Nakawala mbeera Nabweru North.

Okugenda mu bufumbo seewaggula bwewagguzi naye nali mbeera wa mukulu wange e Kireka nga nina omulimu gwe nkola ogw'okuluka amasweeta ne nfuna ssente ezannyambanga okweyambaza ne nyirira ng'omukyala ow'obuvunaanyizibwa. Nali ku mulimu ne nfuna kasitoma eyajja n'ansaba ampase. Saamukaluubiriza kubanga emyaka gy'okufumbirwa gyali gituuse.

Yakkiriza n'ajja awaka n'alaba abazadde ng'enkola y'okukyala bweri bwentyo ne nzikirizibwa okugenda naye. Omusajja ono yalina empisa mu kusooka ng'ampisa bulungi naye yansobera ku baana baffe babiri be twali twakafuna n'atandika akukyuka mpola. Yeecanga n'atandika obutampa ssente za mmere kyokka tekyannumanga engeri gye nali nkola nga nsobola okulabirira abaana.

Yeegoba awaka n'agenda wabula tekyantunduzza nnyo mutima kuba nali nsobola okusasula ennyumba. Yakomawo awaka naye ekiseera kyatuuka n'addamu okugenda n'andeka n'abaana bataano.

Nawulira nti yawasa nze ne nsigala okubonaabona n'abaana kubanga abamu baali batandise okusoma. Ekiseera kyatuuka ne ntendewalirwa ne nsitula abaana ne mbatwala ewa ssenga wange anyambeko.

Omusajja yajja n'anzigyako abaana n'abatwalira mukyala we kyokka nga baali mu mbeera nnungi ewaffe. Okuva lwe yabatwala abasiibyanga mu nnyumba ng'abakugira okundabako.

Tebakkirizibwanga kuzannya nga n'okunaaba kwabeeranga mu nnyumba ate nga we basula wafunda. Nabaggyeyo ne ηηenda bannyambeko naye ndi mu kutya nti omusajja ayinza okuddamu n'ababba. Abasomi ba Bukedde nsaba mumpe ku magezi. Weereza obubaka ku www.facebook.com/ bukedde. u

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...